Omutendesi wa City Oilers yeegasse ku Kepler eya Rwanda.

Omutendesi wa City Oilers yeegasse ku Kepler eya Rwanda.

CITY Oilers bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga ey’oku ntikko eya basketball basiibudde abadde omutendesi waabwe emyaka 11 Mandy Juruni eyeegasse ku Kepler eya Rwanda ku ndagaano ya myaka ebiri. Juruni yeegatta ku City Oilers mu mwaka gwa 2012 ng’azannya bw’atendeka ttiimu bwe yali ekyali mu kibinja ekya wansi n’abayamba okwesogga liigi y’oku ntikko. Bwe beesogga liigi

CITY Oilers bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga ey’oku ntikko eya basketball basiibudde abadde omutendesi waabwe emyaka 11 Mandy Juruni eyeegasse ku Kepler eya Rwanda ku ndagaano ya myaka ebiri.

Juruni yeegatta ku City Oilers mu mwaka gwa 2012 ng’azannya bw’atendeka ttiimu bwe yali ekyali mu kibinja ekya wansi n’abayamba okwesogga liigi y’oku ntikko.

Bwe beesogga liigi y’oku ntikko Juruni yasalawo okuwummula okuzannyira City Oilers n’atandika ogw’obutendesi era okuva 2015 bawangudde ebikopo bya liigi 9 eby’omuddiring’anwa wansi wa Juruni.

Ono abayambye okuwangula ebikopo bya FIBA zone V bibiri, abatutte mu z’okusunsula ttiimu ezikiika mu za BAL emirundi ena (4). Sizoni ewedde gye baasooka okuteekawo ekyafaayo bwe beesogga ez’akamalirizo (BAL), baayitawo nga ttiimu eyakwata ekyokusatu oluvannyuma lw’okuwangula Urunani eya Burundi (71-62).

Wiiki ewedde City Oilers yakubiddwa abategesi aba Cape Town Tigers (70-68) ku fayinolo y’ezookusunsulamu ttimu ezinakiika mu za BAL omwaka ogujja e Rwanda, wabula okutuuka ku mutendera guno yabadde yayiseewo dda okwesogga eza BAL sizoni eyookubiri ey’omuddiring’anwa.

Ttiimu bbiri ezaatuuse ku fayinolo mu z’okusunsulamu zino ne Dynamo Basketball Club eya Burundi eyakubye Club Omnisport Police National (COSPN) eya Madagascar (79-78) mu kulwanira ekifo ekyokusatu ze zaayiseewo okwesogga ez’akamalirizo ezinaazannyibwa omwaka ogujja mu kibuga Kigali ekya Rwanda.

Okutuuka ku kkula lino City Oilers yakulembedde ekibinja B nga tekubiddwaamu bwe yawangudde COSPN (81-76), n’ekuba JCB eya Zimbabwe (84-71) ne Ferroviaro da Beira eya Mozambique (100-86) ate ku semi n’eggyamu Dynamo Basketball Club (72-61).

Ku Lwokubiri Juruni yafunye ddiiru ensava mu ttiimu ya Kepler mu Rwanda era n’asuulawo City Oilers.

Eggulo (December 6, 2023) Maneja wa City Oilers Mohammad Santur ku lwa ttiimu yonna wamu n’abakungu baayo yayozaayozezza Juruni era ne bamusaba okusigaza omutima ogwagaliza City Oilers ebirungi nga bw’abadde eabikola.

“Juruni tetugenda kumwerabira mu byafaayo bya City Oilers, era ekiseera kyonna kyayagalira okudda, tujja kumwaniriza,” Santur bwe yategeezezza

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *