Omutendesi wa  Crested Cranes yasibiridde abazannyi be entanda.

Omutendesi wa  Crested Cranes yasibiridde abazannyi be entanda.

Omutendesi wa Crested Cranes ttiimu y’eggwanga enkulu ey’abakazi abasamba omupiira, yasabye abazannyi bonna ababadde mu liigi ya wano mu ggwanga, beerabire byonna ebyavuddemu, obwongo babutunuulize eza CECAFA zibindabinda. Liigi y’eggwanga ‘FUFA Women Super League 2021/2022’ yakomekkerezeddwa nga May 20, 2022, She Corporates be baawangudde ekikopo nga bakisuuza Lady Doves abaakiwangula sizoni ewedde. Lutalo yayozaayozezza abazannyi

Omutendesi wa Crested Cranes ttiimu y’eggwanga enkulu ey’abakazi abasamba omupiira, yasabye abazannyi bonna ababadde mu liigi ya wano mu ggwanga, beerabire byonna ebyavuddemu, obwongo babutunuulize eza CECAFA zibindabinda.

Liigi y’eggwanga ‘FUFA Women Super League 2021/2022’ yakomekkerezeddwa nga May 20, 2022, She Corporates be baawangudde ekikopo nga bakisuuza Lady Doves abaakiwangula sizoni ewedde.

Lutalo yayozaayozezza abazannyi abali ku ttiimu y’eggwanga abaakoze obulungi mu liigi okuli; Daphine Nyayenga(Ggoolokippa eyasinze), Zaina Nabbumba(omuzannyi wa sizoni), Fazil Ikwaput ne Hasifah Nassuuna (abaakulembedde abateebi ne ggoolo 15 buli omu) era bano yabasabye omutindo bagwongeremu amaanyi okuyitirira mu za CECAFA.

Crested Cranes bali mu nkambi ku Paradise Hotel Kisaasi nga beetegekera empaka za ‘2022 CECAFA Women Championship’ ez’okuzannyibwa wakati wa June 1 – 11, 2022 ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru mu disitulikiti y’e Jinja.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *