Lwakutaano mu liigi e Lugogo KCCA – Express, 10:00 Morley Byekwaso, omutendesi wa KCCA, alabudde abazannyi be obutacamuukirira olwa ffoomu ya Express embi gy’eriko oluvannyuma lw’okumala emipiira esatu nga tewangula. Express, ekyalira KCCA enkya ku Lwokutaano ku mupiira ogusuubirwa okubeerako n’obugombe e Lugogo. Express eyagala buwanguzi bwokka okukendeeza akazito omutendesi James Odoch k’aliko oluvannyuma lw’okukubwa
Lwakutaano mu liigi e Lugogo
KCCA – Express, 10:00
Morley Byekwaso, omutendesi wa KCCA, alabudde abazannyi be obutacamuukirira olwa ffoomu ya Express embi gy’eriko oluvannyuma lw’okumala emipiira esatu nga tewangula.

Express, ekyalira KCCA enkya ku Lwokutaano ku mupiira ogusuubirwa okubeerako n’obugombe e Lugogo. Express eyagala buwanguzi bwokka okukendeeza akazito omutendesi James Odoch k’aliko oluvannyuma lw’okukubwa emipiira esatu egy’omuddirig’anwa.
“Tetugenda kugaya, wadde nga ttiimu gye tuzannya ffoomu yaayo mbi”. Byekwaso bwe yategeezezza. Yagasseeko nti Express ttiimu nnene era tulina okukozesa obukodyo bwonna ssaako emikisa gye tufuna tugikozese okusobola okuwangula ensiike eno.
KCCA bw’efuna obuwanguzi bugitwala waggulu ku kimeeza oluvannyuma lw’okwolesa omutindo omulungi bukya ekubwa Maroons 1-0 mu October.
KCCA egenda kusubwa Filbert Obenchan olw’obuvune sso nga Allan Kayiwa owa Express naye abuusibwabuusibwa.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *