Omutendesi wa St.Lawrence University awera kuwangula ekikopo.

Omutendesi wa St.Lawrence University awera kuwangula ekikopo.

Mu Pepsi University Football League. MUBS 0-3 SLAU Omutendesi wa St.Lawrence University (SLAU),Davis Ssozi Nnono olwesozze fayinolo ya Pepsi University Football League sizoni eyookubiri ey’omuddiring’anwa n’awera okuwangula ekikopo ekisooka omwaka guno. Ono abadde yaakava ku kkoligo lya kaadi emmyuufu gye yafuna ku ‘quarter’ nga bawandulamu Kampala University ku mugatte gwa ggoolo (5-1).Ku lwokubiri baggyeemu MUBS

Mu Pepsi University Football League.

MUBS 0-3 SLAU

Omutendesi wa St.Lawrence University (SLAU),Davis Ssozi Nnono olwesozze fayinolo ya Pepsi University Football League sizoni eyookubiri ey’omuddiring’anwa n’awera okuwangula ekikopo ekisooka omwaka guno.

Ono abadde yaakava ku kkoligo lya kaadi emmyuufu gye yafuna ku ‘quarter’ nga bawandulamu Kampala University ku mugatte gwa ggoolo (5-1).Ku lwokubiri baggyeemu MUBS ku semi gye baakubye ggoolo 3-0 ne bayitirawo ku mugatte gwa ggoolo 5-1 okwesogga fayinolo.Mu gwasooka,SLAU yawangula ggoolo 2-1.

Ggoolo za Micheal Kayongo,Bruno Bunyaga n’eya kyeteeba okuva eri Kapiteeni wa MUBS,Herbert Abima ze zaawadde SLAU obuwanguzi.

Wabula ogw’okuddingana gwabaddemu akavuyo k’abawagizi bwe beeyiye mu kisaawe olw’effujjo ne balwana ekyaviiriddeko omupiira okuyimirira okumala eddakiika 20 ekyawaliirizza poliisi okukuba ttiyagaasi okubakkakkanya.

Eno sizoni ya SLAU eyookuna mu liigi ya yunivasite ng’ezze yeeyubula buli mwaka.Sizoni eyasooka mu 2017,teyava mu kibinja ,2018 yamalira mu kyakuatu bwe yakuba Bugema (5-1) ate sizoni ewedde,baakubiddwa UCU (2-1) ku fayinolo. Sizoni eno baagala kikopo.

‘’Eno ye sizoni ya SLAU okwegatta mu bakyampiyoni ba liigi ya yunivasite mu myaka 10 gye yaakamala ng’ezannyibwa’’ Nnono bwe yaweze.

Fayinolo ya University League yaakuzannyibwa ku Lwomukaaga nga November 12,SLAU bw’eneeba ettunka ne bakyampiyoni ba 2017 aba Uganda Martyrs e Lugogo.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *