Omutendesi wa URA FC ayogedde ekikubya ttiimu yaabwe.

Omutendesi wa URA FC ayogedde ekikubya ttiimu yaabwe.

Sam Timbe. Omutendesi wa URA FC,Sam Timbe ali ku kyokya oluvannyuma lw’okulemwa okuwangula omupiira gwabwe ne Wakiso Gaints mwe baabameggedde ggoolo 2-1 mu liigi ya babinywera. Timbe ne batabani be aba URA, baakazannya emipiira mukaaga nga balinamu wiini emu yokka eya Busoga, amaliri ga mirundi esatu n’okukubwa emipiira ebiri okuli; Express 1-0 ne Wakiso Gaints

Sam Timbe.

Omutendesi wa URA FC,Sam Timbe ali ku kyokya oluvannyuma lw’okulemwa okuwangula omupiira gwabwe ne Wakiso Gaints mwe baabameggedde ggoolo 2-1 mu liigi ya babinywera.

Timbe ne batabani be aba URA, baakazannya emipiira mukaaga nga balinamu wiini emu yokka eya Busoga, amaliri ga mirundi esatu n’okukubwa emipiira ebiri okuli; Express 1-0 ne Wakiso Gaints 2-1.

Eggulo,URA yayingidde ensiike eno nga basabusityuti b’erina ku katebe tabawera ekyaviiriddeko abamu ku bwagizi okugamba nti kye kyabakubizza Wakiso Giants.Akulira emirimu mu ttiimu eno Allan Munaaba agamba nti abazannyi basusse okwolesa ekyejo mu ttiimu nga n’abamu tebalaga mutima gwagala kuzannya.

Tugenda kuzannyisa abo abaagala era abafiiririra ttiimu kuba tugenze okulaba ng’abazannyi abamu tebakyefiirayo,’’Munaaba bwe yategeezezza.

Eno ye sizoni ya URA esoose okutandika n’omutindo gw’ekibogwe era bakakwata kifo kyamusanvu ku bubonero mukaaga.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *