Omuwala aleebezza banne mu mpaka za golf e Jinja

Omuwala aleebezza banne mu mpaka za golf e Jinja

MUSAAYIMUTO Thereza Ampaire 16, enzaalwa y’e Jinja yeeyongedde okulaga eggwanga nga kiraabu y’e Jinja bwetajja kukoma awo okuzuula ebitone bya Golf. Ono yawangudde ekibinja ky’abakyala B n’obugoba 60 mu bunywa 18 n’asitukira mu mpaka za Kakira Golf Open ku wiikendi . Ampaire omuzannyo guno yagutandika mwaka guno okugwenyigiramu. Yasooka n’awangula empaka za Elgon Coffee Cup

MUSAAYIMUTO Thereza Ampaire 16, enzaalwa y’e Jinja yeeyongedde okulaga eggwanga nga kiraabu y’e Jinja bwetajja kukoma awo okuzuula ebitone bya Golf.

Ono yawangudde ekibinja ky’abakyala B n’obugoba 60 mu bunywa 18 n’asitukira mu mpaka za Kakira Golf Open ku wiikendi .

Ampaire omuzannyo guno yagutandika mwaka guno okugwenyigiramu. Yasooka n’awangula empaka za Elgon Coffee Cup ezaali e Mbale omwezi oguwedde ate kati yasitukidde mu za Kakira Golf Open ez’omulundi ogw’e 14.
Silver Opio owa kiraabu y’e Entebbe ye yawangudde empaka za bapulofeesono bwe yakubye Abbey Bagalana ku bugoba 5-6.

Kaputeeni wa Jinja Club, Cyprian Talima yakubirizza abantu bonna okwenyigira mu muzannyo gwa Golf .

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *