Omuwendo gw’abawuzi omutono gwatulemesezza obuwanguzi-Mwase.

Omuwendo gw’abawuzi omutono gwatulemesezza obuwanguzi-Mwase.

Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okuwuga yakomyewo okuva mu ggwanga lya Tanzania gye yamalidde mu kifo kyakusatu mu mpaka  z’okuwuga ez’obuvanjuba bwa Afrika eza CANA Zone Three Swimming Championships ezaabadde ziyindira mu kibuga Dar es Salaam. Uganda okumalira mu kifo ekyokusatu yaakung’aanyizza obubonero 2,521,Kenya kyakubiri n’obubonero 2,768 ng’empaka zaawanguddwa Tanzania abategesi n’obubonero 3,061. Pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo

Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okuwuga yakomyewo okuva mu ggwanga lya Tanzania gye yamalidde mu kifo kyakusatu mu mpaka  z’okuwuga ez’obuvanjuba bwa Afrika eza CANA Zone Three Swimming Championships ezaabadde ziyindira mu kibuga Dar es Salaam.

Uganda okumalira mu kifo ekyokusatu yaakung’aanyizza obubonero 2,521,Kenya kyakubiri n’obubonero 2,768 ng’empaka zaawanguddwa Tanzania abategesi n’obubonero 3,061.

Pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga ekya Uganda Swimming Federation,Moses Mwase yategeezezza nga bwe bagenda okulwana okulaba nga bawangula empaka z’omwaka ogujja.

‘’Abawuzi baakoze kyonna kye basobola wabula olw’okuba ng’omuwendo gwa bawuzi gwe twatutte gwabadde mutono,tubadde tetuyinza kuwangula mpaka za  mwaka guna.’’Mwase bwe ytegeezezza.

Mu mpaka zino Uganda yaakiikiriddwa abawuzi 48 ng’amawanga 10 okuli;Kenya,Rwanda,Ethiopia,Sudan,Djibouti,Zambia ,South Afrika,Uganda ne Tanzania ge geetabye mu mpaka zino.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *