Omuwuzi Namutebi awangudde omudaali gwa feeza.

Omuwuzi Namutebi awangudde omudaali gwa feeza.

Munnayuganda omuwuzi Kirabo Namutebi awangulidde Uganda omudaali ogwa feeza mu mpaka z’okuwuga eza Cana Senior African Championships eziyindira mu Tunis ekya Tunisia. Kirabo omudaali yaguwangudde mu mutendera gwa mmita 50 free style oluvannyuma lwokumalira mu kyo kubiri nga yawugidde ssekondi 26:01 .Empaka zaawanguddwa Weidemann Inge enzaalwa ya South Africa nga yawugidde ssekondi 25:75. Guno gwe

Munnayuganda omuwuzi Kirabo Namutebi awangulidde Uganda omudaali ogwa feeza mu mpaka z’okuwuga eza Cana Senior African Championships eziyindira mu Tunis ekya Tunisia.

Kirabo omudaali yaguwangudde mu mutendera gwa mmita 50 free style oluvannyuma lwokumalira mu kyo kubiri nga yawugidde ssekondi 26:01 .Empaka zaawanguddwa Weidemann Inge enzaalwa ya South Africa nga yawugidde ssekondi 25:75.

Guno gwe mudaali gwa Uganda ogwasokedde ddala mu mpaka zino nga Uganda yakiikiriddwa abawuzi 3 okuli; Namutebi, Tendo Mukalazi ne Fadhil Saleh.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *