Omuzannyi wa She Cranes Stella Oyella afunye omusajja amuwasizza mu butongole.

Omuzannyi wa She Cranes Stella Oyella afunye omusajja amuwasizza mu butongole.

Ssita wa She Cranes ne National Insurance Corporation (NIC) Stella Oyella awonye empewo y’ekiro bw’afunye omusajja amuwasizza mu butongole. Oyella okulaga nti mumalirivu eri Mansour Juma Kibirige yasoose kutoola shahada, n’ayanjula omusajja we mu bazadde ku kyalo Kamuli B era ne bawoowebwa ku muzigiti gwa Gaddafi ku Old Kampala. Ono yasuubizza okuba omugonvu eri omwami

Ssita wa She Cranes ne National Insurance Corporation (NIC) Stella Oyella awonye empewo y’ekiro bw’afunye omusajja amuwasizza mu butongole.

Oyella okulaga nti mumalirivu eri Mansour Juma Kibirige yasoose kutoola shahada, n’ayanjula omusajja we mu bazadde ku kyalo Kamuli B era ne bawoowebwa ku muzigiti gwa Gaddafi ku Old Kampala.

Ono yasuubizza okuba omugonvu eri omwami we, wadde tabadde musiraamu naye mwetegefu okugoberera ennono zonna ate n’okumuzaalira abaana okuli n’omusika.

Kino buli mukazi kye yeetaaga mu bulamu nsaba omwami wange annesige nange mweesige anjagale mwaagale, abeerewo mbeererewo mu bulungi ne mu bubi okutuusa okufa nga kutwawudde ;;Oyella bwe yasuubiza’’.

Mu kiseera kino baatandise amaka e Najjera mu munisipali ye Kira esangibwa mu distulikiti y’e Wakiso.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *