Omuzannyi w’ebikonde asirisizza munne azze amwepikira okumala ebbanga.

Omuzannyi w’ebikonde asirisizza munne azze amwepikira okumala ebbanga.

Omuggunzi  w’eng’uumi, Ronald Gayita, asirisizza Ezra Ssali bwe batalima kambugu, bw’amukubye ekikonde ‘tonziriranga’ n’amuleka ng’ayooya busera. Baabadde battunkira mu liigi y’eggwanga ey’ebikonde emanyiddwa nga ‘UBF Boxing Champions League’, eyazzeemu okutojjera ku’ MTN Arena’ e Lugogo, ng’olulwana olukulu lwabadde wakati wa Gayita ne Ssali abali akabwa n’engo. Gayita owa ‘COBAP Boxing Club’, yafukiridde Ssali owa Kalinabiri,

Omuggunzi  w’eng’uumi, Ronald Gayita, asirisizza Ezra Ssali bwe batalima kambugu, bw’amukubye ekikonde ‘tonziriranga’ n’amuleka ng’ayooya busera.

Baabadde battunkira mu liigi y’eggwanga ey’ebikonde emanyiddwa nga ‘UBF Boxing Champions League’, eyazzeemu okutojjera ku’ MTN Arena’ e Lugogo, ng’olulwana olukulu lwabadde wakati wa Gayita ne Ssali abali akabwa n’engo.

Gayita owa ‘COBAP Boxing Club’, yafukiridde Ssali owa Kalinabiri, ebikonde ebikirako amazzi era teyasimattuse laawundi yaakubiri n’amuliisa ebigambo bye oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’amwepikira. Battunkidde mu buzito bwa ‘Fly’, kkiro 52.

Mu nnwaana endala, Shafic Mawanda yakubye Aaron Iga ku bubonero 5-0 mu buzito bwa ‘L/Fly’, Frank Bwire n’awumiza  Elijah Kakembo ‘tonziriranga’ mu laawundi esooka mu buzito bwa ‘Feather’, Moses Luswata n’aggunda Arafat Sembatya mu buzito bwa ‘Cruiser’, n’endala.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *