EKIBIINA ekivunaanyizibwa ku mizannyo gy’amasomero ga siniya mu Uganda ekya Uganda Secondary Schools Sports Association (USSSA) kikakasizza ng’omuzannyo gwa ludo bwe gugenda okubeera ku kalenda y’emizannyo gy’omwaka guno. Bano baabadde baanukula ebbaluwa eyabawandiikirwa aba Uganda Ludo Federation (ULF) nga February 17 okusobozesa omuzannyo guno okubuna mu masomero. Pulezidenti w’ekibiina kya ULF, Hussein Kalule agamba nti,
EKIBIINA ekivunaanyizibwa ku mizannyo gy’amasomero ga siniya mu Uganda ekya Uganda Secondary Schools Sports Association (USSSA) kikakasizza ng’omuzannyo gwa ludo bwe gugenda okubeera ku kalenda y’emizannyo gy’omwaka guno.
Bano baabadde baanukula ebbaluwa eyabawandiikirwa aba Uganda Ludo Federation (ULF) nga February 17 okusobozesa omuzannyo guno okubuna mu masomero.

Pulezidenti w’ekibiina kya ULF, Hussein Kalule agamba nti, “Kibadde mu ntegeka zaffe nga abeekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu Uganda okulaba nga tutwala ludo mu masomero ga siniya nga guno tujja gukukozesa ng’omukisa okufuna abazannyi abato naddala abawala.”
Kalule ayongerako ng’agamba nti, “Abayizi bano mu masomero bateredde ng’ate balina n’obwongo obwogi, era nnina okukkiriza nti tujja kubeera ne ttiimu ya ludo ey’amaanyi eneevuganya ku lukalu lwa Afrika ne mu nsi yonna.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *