Omuzannyo gw’okubaka gufuuse ekisekererwa .

Omuzannyo gw’okubaka gufuuse ekisekererwa .

OMUZANNYO gw’okubaka gwafuuse ekisekererwa mu maaso ga minisita w’Ebyemizannyo e Lugogo ng’asisinkanye NCS n’ebibiina by’emizannyo okumanya ebizibu n’ebigendererwa byabwe omwaka guno. Nneebaza minisita Peter Ogwang ne ssaabawandiisi wa NCS Dr. Patrick Ogwel okuyita ebibiina bino ng’omwaka gwakatandika kubanga ebimu bibadde bijjudde entalo ez’okungulu ne munda ekibadde kigenda okuttattana emizannyo. Kyewuunyisa nti omuzannyo gw’okubaka ogwakatwala Uganda

OMUZANNYO gw’okubaka gwafuuse ekisekererwa mu maaso ga minisita w’Ebyemizannyo e Lugogo ng’asisinkanye NCS n’ebibiina by’emizannyo okumanya ebizibu n’ebigendererwa byabwe omwaka guno.

Nneebaza minisita Peter Ogwang ne ssaabawandiisi wa NCS Dr. Patrick Ogwel okuyita ebibiina bino ng’omwaka gwakatandika kubanga ebimu bibadde bijjudde entalo ez’okungulu ne munda ekibadde kigenda okuttattana emizannyo.

Kyewuunyisa nti omuzannyo gw’okubaka ogwakatwala Uganda mu World Cup 3 (1979, 2015 ne 2019) gukyalemeddemu entalo ze nalaga pulezidenti wa UNF, Sarah Babirye Kityo nga yaakayingirawo!

NCS, bangi bagirumiriza okuvaako UNF okuba n’ebiwayi ebibiri; ekya Babirye n’ekya Aminah Mande, eyali alondeddwa nga omuwandiisi w’ekibiina kyokka Babirye n’amugoba ne Richard Muhumuza, eyali avunaanyizibwa ku byekikugu ssaako Yahaya Ssengoba, eyali omwogezi.

Babirye yabasikiza Harriet Margaret Apolot (omuwandiisi), Rosette Kaala Mutyana (oweebyekikugu) ne Olivia Nakate (omwogezi) era baatandikirawo emirimu okutuusa lwe baayita ttabamiruka.

Engeri NCS gy’esindika omubaka waayo mu buli kulonda kwa bibiina by’etwala, abakungu bonna Babirye Kityo ne banne be baagoba, NCS ekyabalina kubanga teyafuna kiwandiiko nti baabagoba era bwe yatuuse okuyita olukiiko be bamu ku be yaggye mu UNF.
Nawandiika emiko ebiri ku nzonga z’okubaka nga ndabula Babirye kuba nali nkirengedde nti ayolekedde entalo ye yennyini ze yeereetedde. Atya? Okugoba abakungu ttabamiruka be yalonda wamu naye, nga agoba abakozi!

Ekirara, Okugoba n’okukugira eyali pulezidenti w’ekibiina Suzan Anek mu muzannyo gw’okubaka mu ngeri etaamatiza ate Anek n’alondeddwa minisita Hamson Obua ku Boodi lwa NCS! Kino kiraga nti mu ntalo eziriwo tabulamu wadde nga talabika!

Babirye era yakola ensobi nnene nga omukulembeze eyali yaakalondebwa okuwakulirawo entalo ku bakungu be yalondebwa nabo n’abaamukwasa entebe. Bye yakola byonna byandirinze ng’anywedde mu ntebe. K’obeere mukulembeze mulungi otya kizibu okulwana n’abomu nnyumba n’abeebweru n’owangula kuba bikusobera eka ne mu kibira.

Babirye bwe yalonda bannamawulire (Nakate, Fifi Phiona Namiiro, Emmanuel Ssekago ne Alloysius Byamukama) nabasaba basigale ku kumuwabula mu nsonga ezoonoona ekibiina kyokka entalo zeeyongera bweyongezi!

Enzirukanya y’emirimu mu UNF okutereera, abayima okuli, Margaret Nantongo Zziwa, Polof. Badru Kateregga ne Eva Magala balina okuyita buli alowooza nti yanyigirizibwa, ensonga bazituulemu, bayite Babirye ne banne buli omu asonyiwe munne baddemu okutambuza omuzannyo.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *