Onana bamusudde ku ya Cameroon

Onana bamusudde ku ya Cameroon

Ggoolokipa wa ManU ne Cameroon, Andre Onana kata ayungule ku zziga oluvannyuma lw’omutendesi we Rigobert Song okumusuula ku nsiike nga balemagana ne Guinea (1-1) mu mpaka za Afrika eziyindira mu Ivory Coast. Onana, yakwatidde ManU ng’eremagana ne Spurs (2-2) ku Ssande mu Premier era olwamaze omupiira ogwo, n’afuna ennyonyi empangise yeegatte ku ttiimu ye ng’egenda

Ggoolokipa wa ManU ne Cameroon, Andre Onana kata ayungule ku zziga oluvannyuma lw’omutendesi we Rigobert Song okumusuula ku nsiike nga balemagana ne Guinea (1-1) mu mpaka za Afrika eziyindira mu Ivory Coast.

Onana, yakwatidde ManU ng’eremagana ne Spurs (2-2) ku Ssande mu Premier era olwamaze omupiira ogwo, n’afuna ennyonyi empangise yeegatte ku ttiimu ye ng’egenda okuzannya Guinea kyokka wadde yatuuse ng’ebulayo essaawa nga ziizo omupiira guzannyibwe, omutendesi we teyamulabyewo kumuwa mupiira.

Kigambibwa nti aba Cameroon baatidde nti ggoolokipa ono akyalimu obukoowu era yandikubya ttiimu kwe kumusuula. Baamusikizza Fabrice Ondoa kyokka ekyasinze okumuluma kya kuba nti ne ku katebe teyabaddeko nga Devis Epassy ne Simon Ngapandouetnbu be baakabaddeko.

Omuzannyi wa ManU ono yalabiddwaako ng’ali ku kisaawe mu nnaku etagambika era El Hadji Diouf eyaliko omuzannyi wa Senegal nga kati omu ku bakungu baayo ye yamugumizza. Senegal, Cameroon, Guinea ne Gambia bali mu kibinja C mu mpaka zino era buli omu alwana kuva mu kibinja. 

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *