Onyango akomawo ku ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes

Onyango akomawo ku ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes

Eyaliko captain wa ttiimu yéggwanga eya Uganda Cranes, omukwasi wa goolo Dennis Masinde Onyango, alangiridde nti akomyewo okuddamu okuzannyira Uganda Cranes. Onyango obubaka bwókuddamu okuzannyira Uganda Cranes abuyisiza ku mikutu gye emigattabantu, kwatadde nékifaananyi kye bweyali azannyira Uganda Cranes mu kisaawe e Namboole. Onyango abadde yawummula emirimu gya Uganda Cranes mu April wa 2021, oluvanyuma

Eyaliko captain wa ttiimu yéggwanga eya Uganda Cranes, omukwasi wa goolo Dennis Masinde Onyango, alangiridde nti akomyewo okuddamu okuzannyira Uganda Cranes.

Onyango obubaka bwókuddamu okuzannyira Uganda Cranes abuyisiza ku mikutu gye emigattabantu, kwatadde nékifaananyi kye bweyali azannyira Uganda Cranes mu kisaawe e Namboole.

Onyango abadde yawummula emirimu gya Uganda Cranes mu April wa 2021, oluvanyuma lwa Uganda okulemererwa okukiika mu mpaka za AFCON ezisembyeyo e Cameroon.

Okuva Onyango lwe yawummula emirimu gya Uganda Cranes, wabadde wakyabuliddwawo omukwasi wa goolo amuddira mu bigere nga yeetengeredde.

Omutendesi wa Uganda Cranes, Milutin Micho Sredojevic, yoomu kubayozayozeza Onyango okukomawo ku Uganda Cranes.

Onyango wakomeddewo asanze Uganda Cranes evuganya mu mpaka za AFCON qualifiers 2023, ate era nga yetegekera empaka za World Cup qualifiers 2026.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *