Owa wa ttiimu ya Heathen alese kitaawe ku kitanda n’azannya rugby.

Owa wa ttiimu ya Heathen alese kitaawe ku kitanda n’azannya rugby.

Omuzannyi wa ttiimu ya Heathens, Joachim Chisano yalaze obuvumu bwe yazannye wakati mu buzibu bwa kitaawe okubeera ku ndiri n’ayamba kiraabu ye okuwangula ogwa liigi nga bameggera Rhino omwayo ku kisaawe kya Legends ku bugoba 19-7. Chisano yalwanye masajja n’afunira ttiimu ye obugoba butaano ate nga yabadde mpagi luwaga mu kuzannya mu makkati. “Muzeeyi yafuna

Omuzannyi wa ttiimu ya Heathens, Joachim Chisano yalaze obuvumu bwe yazannye wakati mu buzibu bwa kitaawe okubeera ku ndiri n’ayamba kiraabu ye okuwangula ogwa liigi nga bameggera Rhino omwayo ku kisaawe kya Legends ku bugoba 19-7.

Chisano yalwanye masajja n’afunira ttiimu ye obugoba butaano ate nga yabadde mpagi luwaga mu kuzannya mu makkati.

“Muzeeyi yafuna akabenje gye buvuddeko nga kati ali ku ndiri mu ddwaaliro mu kibuga Eldoret mu Kenya. Nga omusajja, siteekeddwa kutiribira kuba buli kimu Katonda y’akireeta nga waliwo n’ensonga. Nnina okukkiriza nti taata ajja kussuuka naye nabadde sisobola kuterebuka kuleka ttiimu yange ng’ezannya omupiira nga tunoonya okulinnya ku ntikko ya liigi,” Chisano bwe yategeezezza.

Yasiimye abawagizi n’abaddukanya omuzannyo ku mitendera egitali gimu abaatandise okumusondera ku ssente ez’obujjanjabi.

Ye omutendesi wa kiraabu ya Heathens, Mohammed Athiyo yategeezezza nti basanyufu olw’obuvumu bwa Chisano eyabeegattako sizoni ewedde era nga balumirwa wamu naye.

Mu nzannya za liigi endala, Buffaloes, Jinja Hippos ne Walukuba nazo zaawanguliddwa ku butaka ku Lwomukaaga.

Obuwanguzi bwasigazza Kobs ku ntikko ya liigi ku bubonero 49 ng’esibaganye ne Heathens sso nga Pirates eri mu kyakusatu ku bubonero 47.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *