Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Hajji Twaha Kaawaase Kigongo yasabye abantu okujjumbira eby’emizannyo ebyenjawulo kuba bino bisobola bulungi okutumbula obumu n’okulaakulanya eggwanga. Bino Owek. Kaawaase yabyogedde asisinkanye aba Great Strikers International abatumbula omuzannyo gw’ebikonde wansi wa Uganda Professional Boxing Championship nga ensisinkano ebadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri. “Eby’emizannyo bikuuma obumu kuba tebimanyi mawanga era
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Hajji Twaha Kaawaase Kigongo yasabye abantu okujjumbira eby’emizannyo ebyenjawulo kuba bino bisobola bulungi okutumbula obumu n’okulaakulanya eggwanga.
Bino Owek. Kaawaase yabyogedde asisinkanye aba Great Strikers International abatumbula omuzannyo gw’ebikonde wansi wa Uganda Professional Boxing Championship nga ensisinkano ebadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
“Eby’emizannyo bikuuma obumu kuba tebimanyi mawanga era ebyemizannyo ye Federo esooka bikung’aanya abantu bonna si nsonga bibiina ki era bwebajja beerabira gyebava nebakulembeza omuzannyo gumu,” Owek. Kaawaase bweyategeezezza.
Katikkiro Kaawaase yategeezezza nti emizannyo mikulu nnyo mu Buganda ne Uganda kuba binyweza obumu mu bantu ba Kabaka awamu n’okutumbula embeera zabwe kuba bisobolera ddala okuvaamu ssente.
Ono yasabye bamusaayimuto mu muzannyo guno awamu n’emirala egyetaaga amaanyi okukozesa ekiseera kyabwe kuba gyetaaga okufunamu nga omuntu akyali muvubuka kuba gyakoma okukula n’omutindo gukendeera.
Ye Minisita avunaanyizibwa ku by’ Emizannyo n’Abavubuka awamu n’Okwewummuza, Henry Ssekabembe Kiberu bano yabeebazizza olw’okuwanika bbendera ya Uganda ne Afirika.
Owek. Ssekabembe yategeezezza nti Buganda eriko enkolagana gyeyagala okuteekawo wakati w’ abatwala ebikonde mu ggwanga okusobola okwongera okutumbula omuzannyo guno.
Amyuka Pulezidenti wa Uganda Professional Boxing Commission, Abby Mugayi yategeezezza nti balina omulimu gw’okutumbula ebitone by’ abavubuka mu ggwanga.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *