Liigi yabadde ya bunkenke nga buli ttiimu etwala ginaayo okutuusa Police bwe yawangudde omuzannyo. Bakyampiyoni ba liigi y’abakazi mu Handball sizoni ewedde aba Police balumye n’ogw’engulu okuggya wiini ku Victoria University mu lutalo lw’okulwanira ebifo ebisava. Eddakiika z’omuzannyo 60 zonna zaabadde za bunkenke eri ttimu zombie nga Police erwanira likodi y’obutakubwamu sizoni eno ate Victoria
Liigi yabadde ya bunkenke nga buli ttiimu etwala ginaayo okutuusa Police bwe yawangudde omuzannyo.
Bakyampiyoni ba liigi y’abakazi mu Handball sizoni ewedde aba Police balumye n’ogw’engulu okuggya wiini ku Victoria University mu lutalo lw’okulwanira ebifo ebisava.
Eddakiika z’omuzannyo 60 zonna zaabadde za bunkenke eri ttimu zombie nga Police erwanira likodi y’obutakubwamu sizoni eno ate Victoria ng’enoonya wiini yaakusatu.
Bakira beetwala n’enjawulo ya ggoolo emu ku bbiri, ng’akulembera ate omulala n’amuggyayo gye byaggweeredde nga Police Emezze Victoria mu bulumi (23 – 21)
Sharon Aedeke Kapiteeni wa Victoria yakiiriza nti Police yabakubizza bumanyirivu bw’ebasingako naye bagenda kwongera okwetereeza enzannya zaabwe eziddako mu liigi bafune obuwanguzi.
Baabadde ku kisaawe ekibikke ekya Old Kampala Arena,ensiike mukaaga mu basajja n’abakazi ze zaazannyiddwa .Liigi esuubirwa okuddamu ku Ssande ku kisaawe kye kimu ku Old Kampala.
Mu liigi ya handball.
Mu bakazi
- Kyengeza 29 – 34 UPDF.
- Police 23 -21 Victoria.
- Ndejje 55 – 18 Makerere.
Mu basajja.
- Evergreen 28 – 48 Prisons.
- Kyambogo 29 – 38 Ndejje.
- UPDF 35 – 27 Makerere
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *