Poliisi baajaganyizza olw’okukuba abavubuka ba Ghetto mu mupiira gw’omukwano.

<strong>Poliisi baajaganyizza olw’okukuba abavubuka ba Ghetto mu mupiira gw’omukwano.</strong>

RDC Nsubuga agamba nti baasazeewo okuteekawo enkolagana wakati w’abavubuka ba Ghetto bangi be balowooza nti beenyigira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka era bafube okulaba nga amaanyi ge bateeka mu bikolwa bino bagazza mu bintu ebibayamba okwongera ku nnyingiza yaabwe. Ono agamba nti ono y’omu ku kaweefube w’okulaba nga balwanyisa ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka nga bateekawo enkolagana ennungi

RDC Nsubuga agamba nti baasazeewo okuteekawo enkolagana wakati w’abavubuka ba Ghetto bangi be balowooza nti beenyigira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka era bafube okulaba nga amaanyi ge bateeka mu bikolwa bino bagazza mu bintu ebibayamba okwongera ku nnyingiza yaabwe.

Ono agamba nti ono y’omu ku kaweefube w’okulaba nga balwanyisa ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka nga bateekawo enkolagana ennungi n’abavubuka bano mu kifo ky’okukozesanga eryaanyi nga babakwata kuba bano balina amawuliire ge basobola okubawa okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.

DPC wa Nansana, Sp.Apollo Tayebwa yasinzidde mu mupiira guno n’akinogaanya nga bw’ayagala okulaba nga ekitundu ky’atwala kibukadde mu mirembe nti era baagala kugonjoola obutakkaanya obubaddewo wakati wa poliisi n’abavubuka abawangaaliira mu Ghetto.

Mu mupiira guno ogwabadde ogw’ebbugumu ku kisaawe e Nabweru abasirikale ba poliisi obwedda abayimba ennyimba eziwaana ttiimu yaabwe baajaganyizza olw’okukuba abavubuka ba Ghetto ne bategeeza nga bwe baakoze tuleyiningi emala n’agamba nti nti nga bwe bawangudde abavubuka bano bwe batyo bwe bagenda okulwanyisa ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka mu kitundu.

Oluvanyuma lw’omupiira wabadde emisinde gy’okwetoloola ebyalo wakati wa poliisi ‘nabavubuka ba Ghetto nga gino gyawanguddwa abavubuka ba Ghetto abakamudde abasirikale akatuuyo.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *