Haalad ateebye ggoolo 20 n’omusobyo mu Bulaaya mu sizoni nnya ez’omuddiringa’anwa ekitegeeza si mawulire okuba ng’ali ku ffoomu. Musizoni ya 2019/2020,yateeba ggoolo 44 mu mipiira 40 . Mu sizoni ya 2020/2021, yateeba ggoolo 41 mu mipiira 41. Musizoni ya 2021/2022 ateebye ggoolo 29 mu mipiira 30. Mu sizoni ya 2022/2023,yaakateeba ggoolo 20 mu mipiira 13.
Haalad ateebye ggoolo 20 n’omusobyo mu Bulaaya mu sizoni nnya ez’omuddiringa’anwa ekitegeeza si mawulire okuba ng’ali ku ffoomu.
- Musizoni ya 2019/2020,yateeba ggoolo 44 mu mipiira 40 .
- Mu sizoni ya 2020/2021, yateeba ggoolo 41 mu mipiira 41.
- Musizoni ya 2021/2022 ateebye ggoolo 29 mu mipiira 30.
- Mu sizoni ya 2022/2023,yaakateeba ggoolo 20 mu mipiira 13.
- Ensonga endala lwaki Haaland afuuse omuzibu,kwekuba ng’ateebye ggoolo 134 mu mipiira 124.
LIKODI EZAAKOLEDDWA:
- Kevin De Bruyne yafuuse ssita wa Man City ekyasinze okukola asisiti bwe yawezezza 94 n’amenyawo likodi ya David Silva eya 93.
- Harry Kane ye musambi asoose okubeera n’omukono mu ggoolo 30 n’omusobyo mu Premier League mu 2022 (Yaakasamba emipiira 30,ateebye ggoolo 31 n’akola asisiti 9.
- Haaland yaakateeba mu mipiira gya Premier League musanvu egy’omuddiring’anwa Newcastle ggoolo (1),Crystal Palace (3),Nottingham (3),Aston Villa (1), Wolves (1),Man Utd (3) ne Southampton (1)
- Haaland ye musambi asinga okuteebera City ggoolo mu 2022/2023 mu Pulimiya,ziri ggoolo 15 mu mipiira 9.
- Abasambi babiri abasobodde okuteebera Man City ggoolo mu mipiira 10 egy’omuddiring’anwa,Billy McAdams (mu 1957) ne Erling Haaland (mu 2022).
- Peneti 19 Ivan Toney z’afunye ku Brentford ,zonna aziteebye.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *