Put afunye obuwanguzi obwokubiri.

Put afunye obuwanguzi obwokubiri.

Omutedensi Paul Put afunye obuwanguzi obwokubiri bukya alya mulimu gwa Uganda Cranes. Cranes yakubye Kuwait (2-0) mu mupiira ogw’omukwano ogwazanyiddwa mu CairoInternational Stadium ekya Misiri ku Lwokutaano. Joseph Put, enzaalwa y’e Belgium, yalondebwa ku butendesi bwa Cranes nga November 2 omwaka oguwedde n’adda mu bigere bya Micho Sredojevic. Bukya agobwa, Cranes yaakazannya emipiira ena. Yakubwa

Omutedensi Paul Put afunye obuwanguzi obwokubiri bukya alya mulimu gwa Uganda Cranes. Cranes yakubye Kuwait (2-0) mu mupiira ogw’omukwano ogwazanyiddwa mu CairoInternational Stadium ekya Misiri ku Lwokutaano. Joseph Put, enzaalwa y’e Belgium, yalondebwa ku butendesi bwa Cranes nga November 2 omwaka oguwedde n’adda mu bigere bya Micho Sredojevic. Bukya agobwa, Cranes yaakazannya emipiira ena. Yakubwa Guinea (2-1) mu za World Cup, Zambia(3-0) ne Mali (1-0) mu gy’omukwano, n’ekuba Somalia (1-0) mu za World Cup. Put anoonya bazannyi baggumiza Cranes nga tennattunka na Botswana ne Algeria mu June mu gisunsula abalyetaba mu World Cup ya 2026.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *