Omutendesi wa Cranes, Paul Put agumizza Bannayuganda nti bagenda kuwangula Somlia babanzzeeko ennaku y’okukubwa Guinea ku Lwokutaano mu gwagguddewo egisunsula abalyetaba mu World Cup y’e Mexico, Amerika ne Canada mu 2026. Put, agamba nti Guinea yabasinzeeko kyokka ne ddiifiri, Nkounkou Mvoutou enzaalwa y’e Congo Brazzaville yalamudde ne kyekubiira. Guinea yawangudde {2-1} nga ggoolo ey’obuwanguzi yazze
Omutendesi wa Cranes, Paul Put agumizza Bannayuganda nti bagenda kuwangula Somlia babanzzeeko ennaku y’okukubwa Guinea ku Lwokutaano mu gwagguddewo egisunsula abalyetaba mu World Cup y’e Mexico, Amerika ne Canada mu 2026.
Put, agamba nti Guinea yabasinzeeko kyokka ne ddiifiri, Nkounkou Mvoutou enzaalwa y’e Congo Brazzaville yalamudde ne kyekubiira.
Guinea yawangudde {2-1} nga ggoolo ey’obuwanguzi yazze mu ddakiika ezoongerwamu oluvannyuma lwa Bevis Mugabi okukola ekisobyo.
Baabadde Morocco ng’eno Guinea gye yakyalizza Uganda .
Guinea y’emu ku ttiimu ezisinga obulungi era nsuubira nti bwe tutereeza obulungi ebyatulemesezza okuwangula tugenda kukola bulungi ku Somalia,’’ Put enzaalwa y’e Belgium bwe yategeezezza.
Somalia balina okugikuba kuba wiini yaayo nkulu nnyo.
Agava mu nkambi galaga nti abazannyi bonna bali bulungi era bamalirivu okuwangula omupiira guno.
Mu gwasoose, Somalia eyabadde ku bugenyi mu kibuga.
Algiers yakubiddwa bannyinimu aba Algeria {3-1} Uganda ne Somalia.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *