Olukiiko oluddukanya emipiira gy’ Amasaza mu Buganda, lutegeezezza nga oluzannya lwa ‘Quarter Finals’ olwali luyimiriziddwa, lugenda kuzannyibwa ku Ssande eno. Kino kirangiriddwa Ssentebe w’olukiiko oluddukanya empaka zino, Sulaiman Ssejjengo mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Lwokubiri e Bulange Mmengo. “Twetegereza embeera eno era twebuzizza ku bakugu ab’enjawulo okuva mu bitongole ebikwatibwako netusalawo ‘Quarter’ fayinolo zizanyizibwa ku
Olukiiko oluddukanya emipiira gy’ Amasaza mu Buganda, lutegeezezza nga oluzannya lwa ‘Quarter Finals’ olwali luyimiriziddwa, lugenda kuzannyibwa ku Ssande eno.
Kino kirangiriddwa Ssentebe w’olukiiko oluddukanya empaka zino, Sulaiman Ssejjengo mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Lwokubiri e Bulange Mmengo.
“Twetegereza embeera eno era twebuzizza ku bakugu ab’enjawulo okuva mu bitongole ebikwatibwako netusalawo ‘Quarter’ fayinolo zizanyizibwa ku Ssande nga 2/10/2022 mu masaza Busiro nga Mawokota ekyaza Buddu, Busiro ekyaza Gomba, Ssingo ekyaza Kyaggwe ne Buweekula ejja kuba ekyaza Bulemeezi,” Omuk. Ssejjengo bw’agambye.
Omuk. Ssejjengo agamba nti bakukozesa amakubo gonna abakugu gebabalambise okusobola okutangira ensaasaana y’ekirwadde kino.
Ono akubiriza ttiimu n’abawagizi okuteekawo ebifo abawagizi webanaanaabira engalo awamu n’okwambala masiki era banywerere ku biragiro ebinabaweebwa okusobola okuziyiza ekirwadde kino.
Omuk. Ssejjengo bannabyamizannyo abasabye okubeera obulindaala basobole okukuuma obulamu bwabwe obulungi.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *