Robson de Souza ayolekedde kusibwa emyaka 9 ku gw’obuliisamaanyi!

Robson de Souza ayolekedde kusibwa emyaka 9 ku gw’obuliisamaanyi!

Kkooti e Brazil ekalambidde ku by’okusiba Robson de Souza amanyiddwa nga Robinho, eyaliko omuzannyi wa Man City yeebake mu mbuzi ekogga okumala emyaka 9 ku musango gw’obuliisamaanyi ogugambibwa nti yaguddiza Italy! Abalamuzi b’omu kkooti y’e  Brazil basimbidde ekkuuli ekibonerezo kkooti y’e Italy mu kibuga Milan kye yawadde  Robinho eky’okusibwa emyaka 9 ku by’okusobya ku mukazi

Kkooti e Brazil ekalambidde ku by’okusiba Robson de Souza amanyiddwa nga Robinho, eyaliko omuzannyi wa Man City yeebake mu mbuzi ekogga okumala emyaka 9 ku musango gw’obuliisamaanyi ogugambibwa nti yaguddiza Italy!

Abalamuzi b’omu kkooti y’e  Brazil basimbidde ekkuuli ekibonerezo kkooti y’e Italy mu kibuga Milan kye yawadde  Robinho eky’okusibwa emyaka 9 ku by’okusobya ku mukazi mu 2013.

Robinho kigambibwa nti ye ne banne abalala 5 mu 2013 baatunuza omukazi mu mbuga ya setaani bwe baamusonyako ekirindi nga bamaze okumuwa ebitamiiza mu bbaala emu, mu ggwanga rya Italy.

Abalamuzi e Brazil baagambye nti ono ekibonerezo ateekeddwa kukikolera mu ggwanga gy’azaalibwa e Brazil, so si mu Italy gye yaddiza omusango.

Kkooti eno ensukkulumu era yatudde n’esalawo mu kalulu k’abasinga obungi nti ekibonerezo ab’e Italy kye baawadde Robinho asaanye akikolere e Brazil kuba obujulizi bwonna bwali bumuluma era bulaga nti ddala omusango yaguzza.

Mu 2017, kkooti mu kibuga Milan ekya Italy, kkooti yasingisa Robinho omusango gw’obuliisamaanyi. Ensala eno yaddamu n’ekakasibwa kkooti ejulirwamu e Italy mu 2020, olwo kkooti ensukkulumu n’ekubamu sitampu mu 2022 nti ono ddala omusango gwamusinga.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *