Abaayogerera Christiano Ronaldo nti aweddemu oliuvannyuma lw’okwolesa omutindu ogw’ekibogwe mu World Cup y’e Qatar omwaka oguwedde ayongeddeokubikaliza ku mimwa. Yaduumidde n’okuteeba ggoolo bbiri nga Portugal efuntula Bosnia {5-0} ku bugenyi ku Mmande. Ensiike yabadde ya kusunsula abalyetaba mu mpaka za Bulaaya {Euro} ez’omwaka ogujja e Girimaani. Ronaldo 38, yafuuse omuzannyi akyasinze okuteeba omwaka guno {ggoolo
Abaayogerera Christiano Ronaldo nti aweddemu oliuvannyuma lw’okwolesa omutindu ogw’ekibogwe mu World Cup y’e Qatar omwaka oguwedde ayongeddeokubikaliza ku mimwa.
Yaduumidde n’okuteeba ggoolo bbiri nga Portugal efuntula Bosnia {5-0} ku bugenyi ku Mmande.
Ensiike yabadde ya kusunsula abalyetaba mu mpaka za Bulaaya {Euro} ez’omwaka ogujja e Girimaani.
Ronaldo 38, yafuuse omuzannyi akyasinze okuteeba omwaka guno {ggoolo 40} nga 31 aziteebedde Al Nassr FC eya Saudi Arabia ate endala 9 mu Portugal.
Yaakazannyira Portugal empiira 203 ne ggoolo 127 okuva mu 2003.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *