Royal Giant High School Mityana ewangudde eza CECAFA.                                                                                        

<strong>Royal Giant High School Mityana ewangudde eza CECAFA.                                                                                        </strong>

Royal Giant High School Mityana eyiiseemu kavu wa mitwalo gya doola 10 muza Uganda bwe bukadde 365,276,400 bw’ewangudde empaka z’amasomero ez’abali wansi w’emyaka 15 mu Africa nga zino zaakomekkerezeddwa ku kisaawe kya Azam Sports Complex e Dar e Salaam ekya Tanzania ku Ssande. Royal Giant baasooka kuwangula masomero ga Uganda agenjawulo mwenda, omwali Kitende, Buddo,

Royal Giant High School Mityana eyiiseemu kavu wa mitwalo gya doola 10 muza Uganda bwe bukadde 365,276,400 bw’ewangudde empaka z’amasomero ez’abali wansi w’emyaka 15 mu Africa nga zino zaakomekkerezeddwa ku kisaawe kya Azam Sports Complex e Dar e Salaam ekya Tanzania ku Ssande.

Royal Giant baasooka kuwangula masomero ga Uganda agenjawulo mwenda, omwali Kitende, Buddo, Dynamic n’amalala bwe batyo ne beesogga empaka za African School Football Championship CECAFA Zone qualifiers 2023.

Ezimu ku ttiimu z’amasomero agattunse mu CECAFA w’abali wansi w’emyaka 15 mwe mwabadde; Ecofo Gasanda okuva e Burundi, Cem Baulous, Benjamin Mkapa Sec . School okuva e Tanzania, Aljeel al Genina, Geda Roble Sec  School okuva e Ethiopia, Libya Primary School okuva e South Sudan, Royal Giant High School Mityana okuva e Uganda ne Ecole Secondaire Sumba okuva e Rwanda.

Ku Ssande nga 19.02.2023 empaka zino zaagenze okukomekkerezebwa nga Royal Giant High School Mityana emmeze ttimu ya  Geda Roble Sec School okuva e Ethiopia ku buwanguzi bwa ggoolo 4 ku 2 nga zino zaabadde za kusimulagana penati.

Royal Giant High Schoola kati erindiridde mpaka za Continetal ezigenda okubeera e Morocco mu mwezi gwa April .2023.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *