Rugby efulumizza ensengeka y’emipiira egya liigi eya 2023.

Rugby efulumizza ensengeka y’emipiira egya liigi eya 2023.

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Rugby ekya Uganda Rugby Union, kifulumizza ensengeka y’emipiira egya liigi ya babinywera eya Rugby Premier League season ejja eya 2023. Ensengeka zino ziraze nti liigi ya season ejja egenda kutandika nga 14 January olwo ekomekerezebwe nga 13 May, 2022. Oluzannya olwa round esooka lugenda kukomekerezebwa nga 8 march, ate oluzannya olw’okubiri

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Rugby ekya Uganda Rugby Union, kifulumizza ensengeka y’emipiira egya liigi ya babinywera eya Rugby Premier League season ejja eya 2023.

Ensengeka zino ziraze nti liigi ya season ejja egenda kutandika nga 14 January olwo ekomekerezebwe nga 13 May, 2022.

Oluzannya olwa round esooka lugenda kukomekerezebwa nga 8 march, ate oluzannya olw’okubiri lutandike nga 11 march, 2022.

Emizannyo egigenda okuggulawo liigi eno nga 14 January, Black Pirates yakuttunka ne Heathens mu kisaawe kya Kings Park, Kobs yakuttunka ne Walukuba Barbarians ku kisaawe kya Legends, Hippos yakuzannya ne Impis ku kisaawe kya Dam Water, Buffaloes ne Rhinos e Kyadondo ate Mongers ettunke ne Rams mu kisaawe e Ntebe.

Club ya Heathens bebantameggwa ba season esembyeyo gye bawangulira ku bubonero 87 nga tebakubidwamu mupiira gwonna era bebakyasinze okuwangula liigi eno ekirundi emingi 16.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *