Rukare akalaatidde ebibiina kunkozesa ya ssente.

Rukare akalaatidde ebibiina kunkozesa ya ssente.

PULEZIDENTI wa Uganda Olympic Committee, Donald Rukare akalaatidde ebibiina ebiri wansi waabwe okubalirira obulungi ssente ezibaweebwa Gavumenti okwewala okussibwa ku nninga ofiisi ya kaliisoliiso wa Gavumenti.  “Engeri gye mutandise okufuna ssente okuva mu Gavumenti, mulina okutuukiriza obukwakkulizo bwazo nga mulaga embalirira oluvannyuma lw’ennaku 45 okuva lwe mufunye ssente. Kino kijja kubayamba okwewala ebibuuzo okuva mu Gavumenti,” Rukare

PULEZIDENTI wa Uganda Olympic Committee, Donald Rukare akalaatidde ebibiina ebiri wansi waabwe okubalirira obulungi ssente ezibaweebwa Gavumenti okwewala okussibwa ku nninga ofiisi ya kaliisoliiso wa Gavumenti.

 “Engeri gye mutandise okufuna ssente okuva mu Gavumenti, mulina okutuukiriza obukwakkulizo bwazo nga mulaga embalirira oluvannyuma lw’ennaku 45 okuva lwe mufunye ssente. Kino kijja kubayamba okwewala ebibuuzo okuva mu Gavumenti,” Rukare bw’agamba.

Rukare yabadde mu ttabamiruka w’ebibiina ebiri wansi wa UOC eyatudde ku Lwomukaaga ku ofiisi za UOC e Lugogo. Mu ttabamiruka ono mwe baayisirizza bajeti ya buwumbi busatu okuyambako ebibiina okwetegekera ez’okusunsulamu emizannyo gya Olympics.

Mbakuutira okuwaayo embalirira ku ssente ze mukozesa mu mpaka ez’enjawulo ze mugenda okwetabamu mu z’okusunsulamu abaneetaba mu Olympics e Bufalansa omwaka ogujja,” Rukare bwe yagambye.

Embalirira yalaze wa UOC awalala w’enessa ssente okuli okusomesa abantu engeri gye balina okudukanyaamu emizannyo, kapeyini z’okutumbula bannabyamizannyo omuli okulwanyisa ebiragalalagala n’ebirala. Bano baakufuna ssente okuva mu Gavumenti, ekibiina ekitwala emizannyo gya Olympics mu nsi yonna, African National Olympics Committee (ANICA) n’abavujjirizi abalala.

Mu lukiiko lwe lumu ebibiina mukaaga byaweereddwa pulinta za kkala okuva ku kitebe kya China mu Uganda zibayambeko mu nzirukanya y’emirimu.

Pulezidenti wa UAF, Dominic Otuchet yakuutidde ebibiina ebisigadde okugumiikiriza kuba abavujjirizi beeyambye byonna okubawa pulinta.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *