Senegal, Mali, Namibia, Burkina faso, cape verde ne Ivory coast batandise nabuwangunzi mu za AFCON.

Senegal, Mali, Namibia, Burkina faso, cape verde ne Ivory coast batandise nabuwangunzi mu za AFCON.

Bakyampiyoni ba Afrika {Senegal}  balaze nti beetegefu okukyeddiza mu Ivory Coast bwe baalaze obukambwe mu mupiira gwabwe ogusooka mu kibinja. Baatimpudde Gambia ggoolo 3-0 ezaateebeddwa Pape Gueye mu ddakiika eyookuna ne Lamine Camara {52 ne 86}. Mu mupiira guno, Sadio Mane, eyaakagattibwa empeta n’omuwala embooko ey’emyaka 18 {laba p23}, yakoze asisiti ku ggoolo eyasoose. Omutendesi

Bakyampiyoni ba Afrika {Senegal}  balaze nti beetegefu okukyeddiza mu Ivory Coast bwe baalaze obukambwe mu mupiira gwabwe ogusooka mu kibinja.

Baatimpudde Gambia ggoolo 3-0 ezaateebeddwa Pape Gueye mu ddakiika eyookuna ne Lamine Camara {52 ne 86}.

Mu mupiira guno, Sadio Mane, eyaakagattibwa empeta n’omuwala embooko ey’emyaka 18 {laba p23}, yakoze asisiti ku ggoolo eyasoose.

Omutendesi Aliou Cisse yagambye nti, ‘’Tubuzeemu okuzannya omupiira omulungi naye ku giddako tugenda kuba bakambwe.’’

Okuva mu 2019 mu mpaka ezaali e Misiri lwe baakubwa Algeria {1-0}, Senegal teddangamu kukubwa mu AFCON era nga ye ttiimu eyasoose okuteeba ggoolo 3 mu z’omulundi guno.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *