Ng’ebula ennaku ssatu zokka URA FC okuzannya omupiira gwayo ogusooka ogwa liigi ya babinywera eya Star Times Uganda Premier League banjudde abadde omuzibizi wa Police FC,Eric Senjobe. Ono yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri oluvannyuma lwa Police FC okudda mu kibinja ekya Big League. Senjobeamaze ebbanga lya wiiki ssatu ng’atendekebwa ne URA era yakakasizza
Ng’ebula ennaku ssatu zokka URA FC okuzannya omupiira gwayo ogusooka ogwa liigi ya babinywera eya Star Times Uganda Premier League banjudde abadde omuzibizi wa Police FC,Eric Senjobe.
Ono yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri oluvannyuma lwa Police FC okudda mu kibinja ekya Big League.
Senjobeamaze ebbanga lya wiiki ssatu ng’atendekebwa ne URA era yakakasizza abatendesi ba URA n’obumanyrivu bw’alina.Ono asuubirwa okuvuganya ne Derrick Ndahiro mu nnamba ssatu oluvannyuma lwa Arafat Galiwango okwbulira ttiimu eno.
Yeegasse ku bazannyi okuli James Begisa,Justine Opiro,Ronald Andabati Mawa,George Ssenkaaba,Salim Abdallah,Michael Lubowa ne Yusuf Wasswa.
Mu ngeri y’emu URA yazzizza buggya endagaano z’abazannyi okuli, Naib,Fesali,Hassan Kalega ne Alou Kokas nga betegekera sizoni empya sso ng’era yatadde; Ashraf Mandela ,Steven Mukwala, Cromwell Rwothomio,Mickdad Ssenyonga,Farouk Katongole,Moses Sserugidde,Ivan Sserubiri ne Arafat Galiwango.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *