FAST5 Netball Tournament (November 5,2022) Newzealand – Uganda England – Uganda (November 6,2022) Uganda –Australia Uganda – South Africa She Cranes etanziddwa doola 5,000 mu za Uganda Shs. 18,970,000 lwa kulemererwa kukiika mu mpaka z’okusunsulamu amawanga agalina okwetaba mu z’ensi yonna omwaka ogujja. Ez’okusunsulamu zino zaliwo wakati wa August 21-27,2022 mu kibuga Pretoria ekya South
FAST5 Netball Tournament
(November 5,2022)
Newzealand – Uganda
England – Uganda
(November 6,2022)
Uganda –Australia
Uganda – South Africa
She Cranes etanziddwa doola 5,000 mu za Uganda Shs. 18,970,000 lwa kulemererwa kukiika mu mpaka z’okusunsulamu amawanga agalina okwetaba mu z’ensi yonna omwaka ogujja.
Ez’okusunsulamu zino zaliwo wakati wa August 21-27,2022 mu kibuga Pretoria ekya South Afrika wabula She Cranes teyazeetabamu oluvannyuma lw’okuba nti yali yayitawo dda okwesogga World Cup olw’ekifo ky’ekwata ekyomukaaga mu nsi yonna.
She Cranes yali yaakava mu mizannyo gya Commonwealth mu kibuga Birmingham ekya Bungereza gye yakubira South Africa (54-48) ne bamalira mu kyokutaano era kiteeberezebwa nti baatya okwonoona obuwanguzi buno singa South Afrika abeesasuza mu z’okusunsulamu.
Francis Bannya akulira emirimu mu kibiina ekitwala omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga agamba nti okubatanza baali bakisuubira kuba kiri mu tteeka,wabula okwetaba mu z’okusunsulamu zino kyali kijja kubamalako obukadde obutakka wansi wa 350.
Ssente ze twali tugenda okusaasanyiza mu mpaka zino ate nga twayitawo dda zaali zisukka ezitutanziddwa y’ensonga lwaki tetwagenda era tugenda kuzisasula.Banya bwe yategeezezza.
Mu kiseera kino She Cranes eri mu kutendekebwa ku kisaawe kya Kamwokya Sports Center,nga beetegekera okwetaba mu za FAST5 2022 Christ Church ezigenda okubeera mu Newzealand wakati wa November 5-6,2022.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *