She Cranes etubidde n’ebbanja ly’engassi

She Cranes etubidde n’ebbanja ly’engassi

Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Cranes y’emu ku ttiimu 12 ezaayitamu okukiika mu mpaka z’ensi yonna eza Netball World Cup e Cape Town mu South Afrika okuva nga 28 July okutuuka nga 06 August. Wabula She Cranes yandiremwa okwetaba mu mpaka zino singa eremwa okusasula engassi eyagikubwa ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu nsi yonna olw’okulemwa

Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Cranes y’emu ku ttiimu 12 ezaayitamu okukiika mu mpaka z’ensi yonna eza Netball World Cup e Cape Town mu South Afrika okuva nga 28 July okutuuka nga 06 August.

Wabula She Cranes yandiremwa okwetaba mu mpaka zino singa eremwa okusasula engassi eyagikubwa ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu nsi yonna olw’okulemwa okwetaba mu mpaka za Africa ez’okusunsulamu abanaazannya World Cup ezaali mu kibuga Pretoria ekya South Afrika okuva omwaka oguwedde. 

Pulezidenti w’ekibiina ky’okubaka Sarah Babirye Kityo yategeezezza nti baawandiikira minisita w’emizannyo Peter Ogwang nga bamutegeeza ku nsonga eno era n’asuubiza okubayamba okusasula ebbanja lino.

“Singa tulemwa okufuna ssente zino, tugenda kusaba abawagazi b’omuzannyo gw’okubaka okutusonderako tusobole okwetaba mu World Cup kuba mmanyi bangi basobola okutukwatirako,” Kityo bwe yagambye abaamawulire.

Bino we bijjidde nga ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, ssentebe wa NCS, Ambrose Tashobya ky’ajje alangirire nga ekibiina ky’okubaka bwe kitagenda kuddamu kuweebwa ssente yonna kuva mu Gavumenti kuba kyalemererwa okulaga embalirira ya ssente ezaagiweebwa nga bagenda e Namibia mu 2021.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *