She Cranes tekiise mu mpaka za Afrika.

She Cranes tekiise mu mpaka za Afrika.

ENKAAYANA n’obutakkaanya mu kibiina ky’omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga zizzeemu okulemesa She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka okukiika mu mpaka z’ekikopo kya Afrika omulundi ogwokubiri mu byafaayo bukya zitandikawo mu 2010. Mu 2012, Uganda yagaanibwa okwetaba mu mpaka zino ezaali mu kibuga Dar es Salaam ekya Tanzania lwa bukulembeze bwa Suzan Anek eyali pulezidenti ebiseera ebyo obwali

ENKAAYANA n’obutakkaanya mu kibiina ky’omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga zizzeemu okulemesa She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka okukiika mu mpaka z’ekikopo kya Afrika omulundi ogwokubiri mu byafaayo bukya zitandikawo mu 2010.

Mu 2012, Uganda yagaanibwa okwetaba mu mpaka zino ezaali mu kibuga Dar es Salaam ekya Tanzania lwa bukulembeze bwa Suzan Anek eyali pulezidenti ebiseera ebyo obwali butatuukirizza nsonga ezimu ekyaviirako okuteekawo akakiiko ak’ekiseera akaali kakulirwa ssentebe John Bosco Matsiko.

Ku Ssande, empaka z’ekikopo kya Africa sizoni y’omwaka guno lwe ziggyibwako akawuuwo mu kibuga Gaborone ekya Botswana wabula Uganda yalemereddwa okukiika lwa ntalo eziri mu kibiina ky’okubaka ezaaviiriddeko ne Sarah Babirye Kityo eyabadde pulezidenti okuzzibwa ebbali.

Mu kiseera kino ekibiina ky’okubaka kikulemberwa kakiiko ak’ekiseera wansi wa ssentebe waako Moses Mwase ng’ayambibwako Leticiah Namutebi (ow’ekibiina ky’emisinde), Cecilia Anyakoit (owa NCS) ne kapiteeni wa She Cranes Peace Proscovia.

Mu ngeri y’emu She Cranes ebadde yaakasubwa okukiika mu mpaka z’ensi yonna ezaabadde zigendereddwaamu okulinnyisa ensengeka eza Spar Diamond Challenge Test Series ezaatandise ku Ssande nga zikomekkerezebwa Ssande ya wiiki eno mu South Africa.

Mwase yeetonze ku lw’ekibiina ky’okubaka n’obuvunaanyizibwa obwamukwasiddwa okuddukanya emirimu gya UNF okumala emyezi 6.

“Tusaaliddwa nnyo olwa She Cranes obutakiika naye ensonga twaziyingiddemu kikeerezi ne tulemererwa okukwatagana n’obudde kuba eby’okukolako mu kiseera ekitono nga bye bingi naye omuzannyo gugenda kudda mu nteeko,” Mwase bwe yategeezezza.

Uganda baakawangula ekikopo kya Africa emirundi ebiri egy’omuddiring’anwa (2017 ne 2018), omwaka guno babadde banoonya kyakusatu.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *