She Cranes yeetegekera gya Common Wealth.

She Cranes yeetegekera gya Common Wealth.

Netball Common Wealth Games 2022 Uganda 84-31 Barbados Tiimu y’eggwanga ey’okubaka She Cranes nga yeetegekera emizannyo gya Common Wealth egitandika enkya ,leero bazannye ogw’omukwano ne Barbados ne bagiwuttula (84-31). Barbados eri mu kibinja A omuli: Australlia,Jamaica,South Africa,Scotland ne Wales. Ate Uganda eri mukibinja B omuli: New Zealand, Malawi, Trinidad and Tobago, Northern Ireland ne Bungereza

Netball Common Wealth Games 2022

Uganda 84-31 Barbados

Tiimu y’eggwanga ey’okubaka She Cranes nga yeetegekera emizannyo gya Common Wealth egitandika enkya ,leero bazannye ogw’omukwano ne Barbados ne bagiwuttula (84-31).

Barbados eri mu kibinja A omuli: Australlia,Jamaica,South Africa,Scotland ne Wales. Ate Uganda eri mukibinja B omuli: New Zealand, Malawi, Trinidad and Tobago, Northern Ireland ne Bungereza (abategesi).

Uganda nga tennamegga Barbados ,Yasoose kukubwa Jamaica (63-37) nga nagwo gwaamukwano.Ku lomukaaga She Cranes lw’eggulawo egya Common Wealth ng’ezannya New Zealand mu kisaawe kya National Exhibition Center mu kibuga Birmingham ekya Bungereza.

Guno mulundi gwakubiri nga Uganda ekika mu Common Wealth ogwasooka mu 2018 mu kibuga Gold Coast ekya Australlia yamalira mu kifo kyamukaaga.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *