FIBA Basketball World Cup Qualifiers Enzannya za Uganda mu kibinja E Uganda 49-82 Angola Uganda 44-89 Ivory Coast Uganda 47-88 Guinea Ku wiikendi Silverbacks yabadde mu kibuga Luanda ekya Angola mu nsiike essatu ez’olukontana olusembayo wabula yakubiddwa Angola abategesi (82-49), Ivory Coast n’egidda mu biwundu (89-44) ne Guinea n’ebannyukiramu (88-47). Zino zaabadde nsiike za kudding’ana mu kibinja E,
FIBA Basketball World Cup Qualifiers
Enzannya za Uganda mu kibinja E
Uganda 49-82 Angola
Uganda 44-89 Ivory Coast
Uganda 47-88 Guinea
Ku wiikendi Silverbacks yabadde mu kibuga Luanda ekya Angola mu nsiike essatu ez’olukontana olusembayo wabula yakubiddwa Angola abategesi (82-49), Ivory Coast n’egidda mu biwundu (89-44) ne Guinea n’ebannyukiramu (88-47).
Zino zaabadde nsiike za kudding’ana mu kibinja E, ezaasooka Angola yakuba Uganda (84-62), Ivory Coast yabawuttula (91-80), Guinea nayo yabayisa bubi (76-69).

Mu z’okusunsulamu zino Uganda yatandikira mu kibinja A mwe yawangulira Cape Verde (77-74) wiini yokka gy’ebazeeko nayo, bwe badding’ana Cape Verde ne yeesasuza (87-78), yakubwa Nigeria emirundi ebiri (91-72 ne 95-69).
Uganda yagenze mu nsiike ezisembayo kutuukiriza mukolo kuba yabadde tekyalina mukisa guyitawo ate n’okwewala okukaligibwa emyaka ebiri ssinga baazisubiddwa.
Olw’ebbula ly’ensimbi, Silverbacks yatutte abazannyi b’awaka 11 bokka ate bwe baatuuse mu Luanda, empagi zaabwe Jimmy Enabu, Fayed Baale ne Rogers Dauna baafunye obuzibu ku mijjoozi zaabwe ne batazannya.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *