Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yategeezezza nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye okulabikako eri Obuganda nga aggulawo empaka z’Ebika bya Buganda e Luweero mu Bulemeezi. Bino Katikkiro Mayiga yabyanjulidde bannamawulire e Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bweyabadde atongoza empaka z’Ebika ez’omwaka guno nasaba buli kika okuzeetabamu kuba enteekateeka bagitaddemu obukadde obuwera
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yategeezezza nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye okulabikako eri Obuganda nga aggulawo empaka z’Ebika bya Buganda e Luweero mu Bulemeezi.
Bino Katikkiro Mayiga yabyanjulidde bannamawulire e Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bweyabadde atongoza empaka z’Ebika ez’omwaka guno nasaba buli kika okuzeetabamu kuba enteekateeka bagitaddemu obukadde obuwera 130..
“Engabo egenda okulwanira okutandika nga June 11, omwaka guno e Kasana Luweero mu Bulemeezi. Nina essanyu lingi nnyo okulangirira nti emipiira gy’ebika 2022 ngitongozza era ekika eky’Engo kyekigenda okuggulawo n’Embwa, Katikkiro Mayiga beyannyonnyodde.
Okusinziira ku bululu obwakwatiddwa bazzukulu ba Muteesaasira ab’Engo bebagenda okuggulawo naba Mutasingwa ab’eddira Embwa e Luweero mu Bulemeezi nga July 11, 2022.
Kinajjukirwa nti emyaka giweze 68 ng’emapaka zino zikuumakuma Abaganda nokutumbula ebitone wabula emyaka 2 egiyise, tezasobola kubaawo olw’ekirwadde kya COVID-19
Owek. Mayiga yasabye ebika eby’enjawulo okujjumbira emipiira gino baleme kulinda kumanyagana mu nnyimbe n’Okwanjula.
Minisita avunanyizibwa ku by’emizannyo mu Buganda Owek. Henry Kiberu Ssekabembe yategeezezza nti ekiriwo Kati kiraga obukulu bw’ebika nasaba buli omu akwatibwako akole omulimu gwe kiyitimuse omutindo n’okukuuma ekitiibwa ky’empaka zino.
Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba yeebazizza nnyo abo bonna abaliko byebakoze okukuuma emipiira gino nasaba Ebika eby’enjawulo okuvaayo babugirize Omutanda ku lunaku olwo.
Engabo eyawakanirwa mu kiseera kino eri mu mikono gy’Ekika ky’ Olugave kyekibadde nayo era ekomezeddwawo nekwasibwa Kamalabyonna nga akabonero akeetegekera olutabaalo oluggya.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita omubeezi ow’ebyobulimi Owek. Amis Kakomo, bajjajja abakulu bebika, abaami b’ Amasaza n’abantu abalala.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *