Ssaabasajja Kabaka yasiimye okulabikako eri Obuganda ku Lwomukaaga.

Ssaabasajja Kabaka yasiimye okulabikako eri Obuganda ku Lwomukaaga.

Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka bwa Buganda, Henry Ssekabembe Kiberu akunze abawagizi b’empaka z’amasaza okugula tiketi za fayinolo y’empaka zino baleme kwekwasa nga tebalabye Kabaka eyasiimye okulabikako eri Obuganda ku Lwomukaaga. Ssaabasajja Kabaka yasiimye okulabikako eri Obuganda okuggalawo empaka z’Amasaza ez’omwaka oguwedde Buddu bw’eneeba ettunka ne Busiro ku fayinolo mu kisaawe e Wankulukuku ku ssaawa mwenda. “Omuwagizi

Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka bwa Buganda, Henry Ssekabembe Kiberu akunze abawagizi b’empaka z’amasaza okugula tiketi za fayinolo y’empaka zino baleme kwekwasa nga tebalabye Kabaka eyasiimye okulabikako eri Obuganda ku Lwomukaaga.

Ssaabasajja Kabaka yasiimye okulabikako eri Obuganda okuggalawo empaka z’Amasaza ez’omwaka oguwedde Buddu bw’eneeba ettunka ne Busiro ku fayinolo mu kisaawe e Wankulukuku ku ssaawa mwenda. “Omuwagizi ayagala okuwagira ttiimu ye n’oyo ayaayaana okulaba ku Mutanda, alina okugula tikiti nga bukyali okwewala okusubwa omukisa okulaba ku Kabaka,” Ssekabembe bwa yasabye abawagizi b’empaka z’amasaza.

Okwogera bino, minisita Ssekabembe yabadde ayanjula ekikopo ky’amasaza eri Obuganda n’okutongoza tiketi za fayinolo ezaatuuse edda ku katale ku mukolo ogwabade e Bulange Mmengo. Akulila abavubuka mu NRM, Hadijah Namyalo yakunze abavubuka okwettanira emizannyo naddala emipiira gy’amasaza kuba giyamba okulwanyisa endwadde omuli ne Mukenenya.

Ono yaguze tiketi za bukadde 10 ne yeebaza abategesi okuyambako okulwanyisa obulwadde. “Abavubuka tuli mumuli ogusobola okukozesebwa okulwanyisa Mukenenya era bwe tuyita mu byemizannyo nga emipiira gy’amasaza. Kye kyatuwaliriza okuwagira empaka zino nga tugula tiketi za bukadde 10,” Namyalo bw’agamba.

Ebifo awagenda okutundibwa tiketi kuliko; Total Kabuusu, Nateete, Kajjansi, Welcome Masaka ne Shell Kibuye, Busega, Kyengera, Pearl Supermarket Ntebe, CBS Offices Masaka ne SH Family Hardware mu Wakiso.

Omuzannyi w’ensambaggere Moses Golola yagulidde abawagizi ba Busiro tiketi 100, Sulaiman Kiwanuka n’agula tiketi 100 n’abalala.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *