Nnyinimu Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okusimbula emisinde gy’amazaalibwage ag’emyaka 67, nga 03 July,2022 mu lubiri e Mmengo. Kino kyabikuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, bweyabadde ayogerako eri olukiiko lwa Buganda olwa 29 olwatudde mu Bulange e Mengo, mweyategeereza abakiise ebimu ku bisobodde okutuukibwako mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2021-22 awamu nokusoomooza kwe basanze. Wadde emisinde
Nnyinimu Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okusimbula emisinde gy’amazaalibwage ag’emyaka 67, nga 03 July,2022 mu lubiri e Mmengo.
Kino kyabikuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, bweyabadde ayogerako eri olukiiko lwa Buganda olwa 29 olwatudde mu Bulange e Mengo, mweyategeereza abakiise ebimu ku bisobodde okutuukibwako mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2021-22 awamu nokusoomooza kwe basanze.
Wadde emisinde gy’amazaalibwa g’e Mpologoma gyali gyakubeerawo mu April, wabula tekyasoboka kuba Ssaabasajja Kabaka yali mitala wa mayanja ku mirimu emitongole.
Katikkiro mu ngeri yeemu yabuulidde Obuganda nti ekitongole kya Ssaabasajja ekya Kabaka Foundation, kyalondeddwa ng’ekitongole ekisinze munsi yonna okuku𝝶aanya omusaayi, era mu kiseera kino Ssenkulu waakyo Edward Kaggwa Ndagala ali mu America gye yagenze okukwasibwa engule eno.
Owek. Mayiga yakunze abantu okuvaayo mu bungi okujjumbira emisinde gino egigenda okuddukibwa wansi w’omulamwa gw’okulwanyisa Mukenenya.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga emijoozi gyatuuse dda era mu bwangu gigenda kuteekebwa ku katale yasabye abantu okugigula nga bukyali beewale okuseerebwa.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *