Ssabasajja kabaka teyalabiseko ku fayinolo z’Amasaza.

Ssabasajja kabaka teyalabiseko ku fayinolo z’Amasaza.

Ekisaawe ky’e wankulukuku tekyajjudde nga fayinolo z’Amasaza bwe zitera okubeera oluvannyuma lw’abawagizi okufuna oluvuuvuumo nti Kabaka,Ronald Muwenda Mutebi tagenda kulabikako,nga Busiro ekuba Buddu 2-1. Lwaki Kabaka teyalabiseeko; Abategesi b’empaka z’Amasaza baguminkirizza emyezi ena Omutanda atereere obulwadde bwa ‘Allergy’ nga Katikkiro Mayiga bwe yategeeza Obuganda wabula  byagaanye. Ono bwino yakubiddeko wiiki ewdde nti Omutanda baabadde bamuzzizzaayo

Ekisaawe ky’e wankulukuku tekyajjudde nga fayinolo z’Amasaza bwe zitera okubeera oluvannyuma lw’abawagizi okufuna oluvuuvuumo nti Kabaka,Ronald Muwenda Mutebi tagenda kulabikako,nga Busiro ekuba Buddu 2-1.

Lwaki Kabaka teyalabiseeko;

Abategesi b’empaka z’Amasaza baguminkirizza emyezi ena Omutanda atereere obulwadde bwa ‘Allergy’ nga Katikkiro Mayiga bwe yategeeza Obuganda wabula  byagaanye.

Ono bwino yakubiddeko wiiki ewdde nti Omutanda baabadde bamuzzizzaayo e Germany bamusibe n’okumukanika yingini naye yalemeddwa okubaawo ku gimu ku mikolo gy’atasubwa kubanga  y’aggulawo era y’aggalawo Amasaza.

Obwedda abantu abenjawulo batakula emitwe nga beebuuza oba Omutanda ali bulungi kubanga nkola ya Buganda ennaku zino obutavaayo kunnyonnyols mbeera  Mpologoma gy’erimu naddala ku nsonga y’obulwadde.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *