Ssekabembe awera kukiikirira Uganda mu z’ebikonde eby’ensi yonna.

Ssekabembe awera kukiikirira Uganda mu z’ebikonde eby’ensi yonna.

Nga yaakamala okukomawo mu bikonde by’abakyakayiga, omuggunzi w’enguumi Mike Ssekabembe yeesomye okukiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics omwaka ogujja. Ssekabembe 43, yakomyewo mu bikonde by’abakyakayiga bye yali yawummula mu 2016 era y’omu ku battunse mu mpaka za National Open Boxing Championship ezaakomekrezeddwa wiiki ewedde. Mu mpaka zino, Ssekabembe wamu ne mutabani we Jonathan Wasswa Ssegane

Nga yaakamala okukomawo mu bikonde by’abakyakayiga, omuggunzi w’enguumi Mike Ssekabembe yeesomye okukiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics omwaka ogujja.

Ssekabembe 43, yakomyewo mu bikonde by’abakyakayiga bye yali yawummula mu 2016 era y’omu ku battunse mu mpaka za National Open Boxing Championship ezaakomekrezeddwa wiiki ewedde.

Mu mpaka zino, Ssekabembe wamu ne mutabani we Jonathan Wasswa Ssegane baawangulidde UPDF Boxing Club emidaali egya zzaabu.

Ku fayinolo Ssekabembe yakubye Sabath Zimaka owa Army Boxing Club ku bugoba 4-1 mu buzito bwa Super Heavy kiro 91 n’okudda wagulu ate mutabani we Ssegane n’akuba Nuhu Batte ‘Muzaata’ owa COBAP tonziriranga mu buzito bwa Welter.

Kyayambye UPDF okuwangula ekikopo ku mutendera gw’abakulu (Elites) kwe baamalidde ku bubonero 26. Wano Ssekabembe we yasinzidde okuwera nti ke yakomyewo bamwerinde asibira mu mizannyo gya Olympics.

Emizannyo gya Olympics gyakuyindira mu kibuga Paris ekya Bufaransa omwaka ogujja. 

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *