Oluvannyuma lwa FMU okwegatta ne MAU mu muzannyo gwa ddigi,Fortune Ssentamu yeesunze okuddamu okufuna okuvuganya okw’amaanyi ne bakafulu b’eggwanga ate abamegge sizoni ejja. Okuva ebibiina ebibiri lwe byaddamu okussa ekimu,Ssentamu avuzeeyo empaka za mirundi ebiri ku kalenda ya FMU wabula tasobodde kukung’aanya bubonero bumala kuwanulayo Alestair Blick eyawangudde omutendera gwa MX2. Ssentamu agamba nti wiiki
Oluvannyuma lwa FMU okwegatta ne MAU mu muzannyo gwa ddigi,Fortune Ssentamu yeesunze okuddamu okufuna okuvuganya okw’amaanyi ne bakafulu b’eggwanga ate abamegge sizoni ejja.
Okuva ebibiina ebibiri lwe byaddamu okussa ekimu,Ssentamu avuzeeyo empaka za mirundi ebiri ku kalenda ya FMU wabula tasobodde kukung’aanya bubonero bumala kuwanulayo Alestair Blick eyawangudde omutendera gwa MX2.
Ssentamu agamba nti wiiki eno lw’ayingizaawo ekyuma ekipya ekika kya Honda ky’agenda okukaabizaako abamuvuganya sizoni ejja wabula agamba nti ddigi eno empya yaakutandikira ku Armed Forces Motorcross Championship ez’omulundi ogwokubiri ezigendereddwaamu okuddiza bannamagye mu ggwanga.
‘’Guno omwaka gwe mmaliriza ebibuuzo byange ebya S4 olwo ntandike okuwa omuzannyo obudde obumala era ndabula bonna abasuubira okuvuganya nange nti bubakeeredde,’’Ssentamu bwe yategeezezza.
Abigail Katende ye kyampiyoni wa sizoni mu MX 50 Pewee,MX 65 (Miguel Katende),MX 85 (Mubarak Mayanja Ssenoga),MX 125 (Akena Obote),MX 1 (Alestair Blick), MX 2 (Kylan Wekesa), MX Vets (Rose Deedan Turinawe), MX masters (Micheal James Akena).
Abakazi: Jamaila Makumbi ye kyampiyoni wa MX 65 (Rahma Nakacwa) ,MX 85 (Shamirah Kateete),MX 125(Shadia Kateete),MX 2 (Sharifah Kateete),MX Vets (Rose Deedan Turinawe)
Bonna abaawangudde ne be baawangudde baakuddamu okwekeesa ebyuma nga November 27,e Busiika mu za Armed Forces Motorcross Championship ez’omulundi ogwokubiri.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *