Ssenyange ayongedde okuwaga.

Ssenyange ayongedde okuwaga.

Isaac Zebra Ssenyange Jr. mutabani w’omugenzi Zebra Ssenyange ayongedde okuwaga nti tagenda kukkiriza mukubi wa bikonde yenna kumulyako nnamba ye ku ttiimu y’eggwanga. Ssenyange bino yabyogedde yaakawangula Richard Kasujja mu liigi ya UBF Boxing Champions League. Battunse mu buzito bwa ‘light middle’ mu nnwaana ezaabadde ku Club Obligatto. Olulwana luno Ssenyange yaluwangulidde ku bugoba 3-2

Isaac Zebra Ssenyange Jr. mutabani w’omugenzi Zebra Ssenyange ayongedde okuwaga nti tagenda kukkiriza mukubi wa bikonde yenna kumulyako nnamba ye ku ttiimu y’eggwanga.

Ssenyange bino yabyogedde yaakawangula Richard Kasujja mu liigi ya UBF Boxing Champions League.

Battunse mu buzito bwa ‘light middle’ mu nnwaana ezaabadde ku Club Obligatto.

Olulwana luno Ssenyange yaluwangulidde ku bugoba 3-2 ne yeetakuluzza ku Kasujja eyabadde amufuukidde engo.

Abannepikira bangi wabula mbajjukiza nti ,nja kubanyiga Ssenyange bwe yategeezezza.

Guno gwe mulundi ogusoose Ssenyange okudda mu miguwa kuva lwe yava mu gya Commonwealth.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *