Sserungoji avudde mu masaza ga Buganda.

Sserungoji avudde mu masaza ga Buganda.

Club za liigi ya babinywera eya Uganda Premier League zetegekera season ejja eya 2023/24, club ya KCCA erangiridde omuwuwuttanyi Joel Sserunjogi gwe bafunye okuva mu mpaka z’amasaza ga Buganda. Joel Sserunjogi mu kiseera kino abadde azannyira ttiimu y’essaza Buddu, kyokka season ewedde 2022 yali mu ttiimu y’essaza Busiro era nabayamba okubawangulira ekikopo kya season eyo.

Club za liigi ya babinywera eya Uganda Premier League zetegekera season ejja eya 2023/24, club ya KCCA erangiridde omuwuwuttanyi Joel Sserunjogi gwe bafunye okuva mu mpaka z’amasaza ga Buganda.

Joel Sserunjogi mu kiseera kino abadde azannyira ttiimu y’essaza Buddu, kyokka season ewedde 2022 yali mu ttiimu y’essaza Busiro era nabayamba okubawangulira ekikopo kya season eyo.

Joel Ssenyonyi mu club ya KCCA atadde omukono kundagaano ya myaka 3 nga abacangira endiba, wabula asobola okugyongezaayo omwaka omulala gumu singa binaaba bitambudde bulungi.

Sserunjogi afuuse omuzannyi ow’omusanvu KCCA beguze mu kwetegekera season ejja, abalala ye Adilson Bruno, Joao Gabriel, Vinicius Michael, Emilison Gonzaga, Cungulo Da Silver ne Etienne Katenga.

Mu ngeri yeemu KCCA esuumusizza bamusaayi muto okuva ku club yaayo ento okugenda ku ttiimu enkulu okuli Mayanja Abubaker, Alex Yiga, Emojong Anthony ne Henry Mubeezi.

Mu kwetegekera season ejja, era KCCA  egenda kuzannyamu omupiira ogw’omukwano ne club ya Kakamega Homeboys eya Kenya mu kisaawe e Lugogo.

Omupiira guno era gugendereddwamu okwongera okuzimba enkolagana wakati wa KCCA n’abawagizi baayo.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *