Abakiise ba basketball basizza kimu nga nkuyege ne baddamu okulonda Nasser Sserunjogi ku bwapulezidenti bw’ekibiina ekifuga omuzannyo guno omulundi ogwokubiri ogw’omuddiring’anwa. Nga bayita mu ttabamiruka w’ekibiina eyatudde ku Hotel Africana mu Kampala, Sserunjogi yamezze Gordon Gumisiriza eyabadde amuvuganya ku bululu 39-16 nga kati waakusigala ku bukulembeze okumala emyaka ena emirala egiriggwaako mu 2027. Sserunjogi ye
Abakiise ba basketball basizza kimu nga nkuyege ne baddamu okulonda Nasser Sserunjogi ku bwapulezidenti bw’ekibiina ekifuga omuzannyo guno omulundi ogwokubiri ogw’omuddiring’anwa.
Nga bayita mu ttabamiruka w’ekibiina eyatudde ku Hotel Africana mu Kampala, Sserunjogi yamezze Gordon Gumisiriza eyabadde amuvuganya ku bululu 39-16 nga kati waakusigala ku bukulembeze okumala emyaka ena emirala egiriggwaako mu 2027.
Sserunjogi ye pulezidenti yekka eyaakakulembera omuzannyo guno nga teyaguzannyako, yasooka kubeera mumyuka wa pulezidenti eyavaako Ambrose Tashobya okumala ebisanja bibiri eby’omuddiring’anwa, gy’emyaka 8.
Ssinga amalako ekisanja kino ekipya kye baakamuwa, ajja kuweza emyaka 16 mu bukulembeze bwa basketball.
Ono olwalangiriddwa ekisanja ekyokubiri n’anyweza ensonga ttaano z’agenda okusimbako ennyo essira mu myaka 4 gy’agenda okumala mu bukulembeze nga muno mulimu; Sserunjogi yasuubizza nga bw’agenda okulwana mu myaka gino ena mu bukulembeze okufuna abavujjirizi abamala kuba akooye okwegoba ne NCS ku nsonga za ssente.

Waakulwanyisa omutindo gw’ekiboggwe mu baddiifiri n’abatendesi ng’abategekera emisomo n’okubasindika mw’ejo egiri ku mutendera gwa Afirika n’ensi yonna.
Omuzannyo okuguzzaayo mu masomero okusobola okuzimba ebitone ku ttiimu z’eggwanga, yasuubizza n’okufunira omuzannyo ekisaawe n’okuddaabiriza ebyo ebiriwo kati.
Okwongera amaanyi mu kukyaza empaka za Zone V n’endala eziri ku mitendera egy’enjawulo ku lukalu lwa Afirika.
Mu ngeri y’emu Racheal Ainamasiko yawangudde Mariam Birungi ku kifo ky’omukyala avunaanyizibwa ku nsonga z’abakazi mu muzannyo guno.
Abalala tebaavuganyiziddwaako okuli; Hudson Ssegamwenge (amyuka pulezidenti), Baker Kyambadde (ow’ebyekikugu), Aggrey Mbonye (byansimbi), Arnold Katabi (mwogezi) ne Patricia Ayebare (wa bitone ebito).
Mu ttabamiruka ono, abakiise 56 abeetabyemu, baayisizza embalirira ya buwumbi 3,110,608,200. Wabula, Aggrey Mbonye omumyuka wa pulezidenti ku nsonga z’ensimbi yalaze nti amakubo ge bategese okufunamu ssente zino mugenda kuvaamu obuwumbi 3,361,050,000 ekyalese abakiise nga beebuuza nti ensuusuuba ey’obukadde 250,441,800 teyalambikiddwa gye ziraga.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *