Ssimbwa acamudde ab’omupiira

Ssimbwa acamudde ab’omupiira

Bya Drake Ssentongo Nagojje 0-1 Magada Fred Ssimbwa Kaggwa omubaka wa Nakifuma mu paliyamenti, yafuukudde ttiimu z’omupiira n’okubaka e Nagojje bwe yazitadeemu emijoozi n’emipiira bye yabasuubiza nge’empaka z’ekikopo kye zitandika mu muluka guno ku Easter Monday. “Temuffiira ku banamwe kubanga mwena ngenda kubawa emijoozi n’emipiira,” bwatyo Ssimbwa bwe yagambye.  Ku fayinolo y’omuluka guno, Magada yawangudde

Bya Drake Ssentongo

Nagojje 0-1 Magada

Ssimbwa (ku ddyo) ng’akwasa kkapiteni wa Nagojje FC emijoozi

Fred Ssimbwa Kaggwa omubaka wa Nakifuma mu paliyamenti, yafuukudde ttiimu z’omupiira n’okubaka e Nagojje bwe yazitadeemu emijoozi n’emipiira bye yabasuubiza nge’empaka z’ekikopo kye zitandika mu muluka guno ku Easter Monday.

“Temuffiira ku banamwe kubanga mwena ngenda kubawa emijoozi n’emipiira,” bwatyo Ssimbwa bwe yagambye.  Ku fayinolo y’omuluka guno, Magada yawangudde Nagojje ku ggoolo (1-0) eyateebeddwa omuvubuka eyakazibwako erya Bbooyi.  Ne mu kubaka Magada yawangudde Nagojje ku ggoolo (14-6).

Abazannyi ba Maganda nga basanyukira emijoozi

Ttiimu zombi ezaatuuse ku fayinolo zafunye emijoozi n’emupiira okwetegekera omutendera ogudako ogw’eggombolola.  Ku ggombolola omuwanguzi wakunyuka n’emitwalo ataano ate owokubiri abiri m’etaano.  Omuwanguzi wa Nakifuma yonna wakutwala obukadde butaano at’e mu kubaka busatu.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *