Sunderland ne Newcastle zittunka nkya.

Sunderland ne Newcastle zittunka nkya.

Sunderland ne Newcastle zittunka nkya {Lwamukaaga} mu luzannya lwa ttiimu 32 mu FA Cup. Omupiira guno guli mu maka ga Sunderland nga yeeweze okuguwangula olw’ebyafaayo ebirungi ku Newcastle. Sunderland ezannyira mu Championship eya Bungereza nga yaamukaaga ate  Newcastle yaamwenda mu Premier. Ttiimu zino zaasemba okusisinkana mu 2014 kyokka mu biseera ebyo Sunderlanda yali yeefuga ensisinkano

Sunderland ne Newcastle zittunka nkya {Lwamukaaga} mu luzannya lwa ttiimu 32 mu FA Cup.

Omupiira guno guli mu maka ga Sunderland nga yeeweze okuguwangula olw’ebyafaayo ebirungi ku Newcastle.

Sunderland ezannyira mu Championship eya Bungereza nga yaamukaaga ate  Newcastle yaamwenda mu Premier.

Ttiimu zino zaasemba okusisinkana mu 2014 kyokka mu biseera ebyo Sunderlanda yali yeefuga ensisinkano yaabwe oluvannyuma lw’okuwangula emipiira 6 n’okulemagana 3 ku 9 gye baasembayo okuzannya.

Ekizibu kyookka eri Sunderland, tewangulangako nsiike eno mirundi 4 giddiringa’ana nga buli lwebadde eweza 3 ng’esuula ku guddako.

Eyingira guno nga yawangula 3 egyasenbayo.

Omutendesi wa ttiimu eno, Michael Beale yategeezezza nti wadde tebakola bulungi mu Championship, omupiira gwokusirizaawo guba mulala era mugumu nti basobola okuwandula Newcastle kuba bagyetegekedde bulungi.

Omutendesi wa Newcastle, Eddie Howe ayingira omupiira  guno ng’ali ku puleesa olwa ffoomu embi ennyo gye baliko mu Premier kyokka nga baatandika beebalira ku kikopo.

Newcastle yaamwenda ng’erina wiini 1 mu mipiira 6 egisembyeyo mu Premier.  

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *