Tanzania Queens ewangudde She Pearls.

Tanzania Queens ewangudde She Pearls.

Ttiimu y’eggwanga ento ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Pearls,yakubiddwa ttiimu eya Tanzania eya Tanzania Queens mu mupiira ogw’omukwano ogwabadde mu kibiga Dar es Salaam ekya Tanzania. She Pearls yabadde egenze kwetaba mu bikujjuko by’emizannyo gy’abakyala ebimanyiddwa nga Tanzanite Women Sports Festival ebya buli mwaka nga byakomekkerezeddwa ku Ssande. Omupiira,Tanzania yaguwangulidde ku ggoolo 45-44 nga She Pearls

Ttiimu y’eggwanga ento ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Pearls,yakubiddwa ttiimu eya Tanzania eya Tanzania Queens mu mupiira ogw’omukwano ogwabadde mu kibiga Dar es Salaam ekya Tanzania.

She Pearls yabadde egenze kwetaba mu bikujjuko by’emizannyo gy’abakyala ebimanyiddwa nga Tanzanite Women Sports Festival ebya buli mwaka nga byakomekkerezeddwa ku Ssande.

Omupiira,Tanzania yaguwangulidde ku ggoolo 45-44 nga She Pearls egamba entabwe yavudde ku kuba nti abazannyi baayo baabadde bakooye oluvannyuma lw’okukozesa bbaasi okugenda e Tanzania.

Wadde nga She Pearls yabadde yaakuzannya emipiira esatu ne Tanzania Queens nga kino tekyasobose olwa Tanzania okusazaamu emipiira emirala ebiri.

Pearls esuubirwa okukomawo wano ku Lwokusatu

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *