Ebivumo n’o n’okulangira by’afunye okuva ku Ssande nga Man City ebawuttudde {3-0} ku Old Trafford, Omutendesi wa ManU, Erik Ten Hag alina okubissa ku bbaIi agikomyewo leero ku ‘Quarter’ ya Carabao Cup. Bakyaza Newcastle mu nsiike efaananira ddala eya sizoni ewedde. Ten Hag asattira kuba abaaliko bassita ba ManU bamulumiriza nti akonya ttiimu yaabwe. Roy
Ebivumo n’o n’okulangira by’afunye okuva ku Ssande nga Man City ebawuttudde {3-0} ku Old Trafford,
Omutendesi wa ManU, Erik Ten Hag alina okubissa ku bbaIi agikomyewo leero ku ‘Quarter’ ya Carabao Cup.
Bakyaza Newcastle mu nsiike efaananira ddala eya sizoni ewedde.
Ten Hag asattira kuba abaaliko bassita ba ManU bamulumiriza nti akonya ttiimu yaabwe.
Roy Keane yamusabye aggyeko Bruno Fernandes obwakapiteeni, sso nga Gary Neville yamulabudde okusitula amangu ttiimu bw’aba tayagala kugobwa.
Abasiba ssente ku mizannyo baalinnyisizza emikisa gya Ten Hag okugobwa ate waliwo abaasabye ManU erowooze ku Thomas Frank owa Brentford.
Carabao Cup kye kikopo ManU ky’esingamu emikisa okuwangula sizoni eno.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *