Ten Hag asobeddwa.

Ten Hag asobeddwa.

Ng’alwana okusitula omutindo gwa ManU, omutendesi Erik Ten Hag asobeddwa olwa kapiteeni we, Bruno Fernandes okussa ekifaananyi kye ne David De Gea ku mukutu gwe ogwa instagram. Fernandes teyayogedde nsonga wabula abatunuulizi baakitapuse nga eyagenderedde okunnyikiza nti Ten Hag yakola nsobi okugoba ggoolokipa De Gea. Abawagizi ba ManU nabo sibasanyufu olwa De Gea, eyali amaze

Ng’alwana okusitula omutindo gwa ManU, omutendesi Erik Ten Hag asobeddwa olwa kapiteeni we, Bruno Fernandes okussa ekifaananyi kye ne David De Gea ku mukutu gwe ogwa instagram.

Fernandes teyayogedde nsonga wabula abatunuulizi baakitapuse nga eyagenderedde okunnyikiza nti Ten Hag yakola nsobi okugoba ggoolokipa De Gea.

Abawagizi ba ManU nabo sibasanyufu olwa De Gea, eyali amaze emyaka 12 mu ttiimu okugobwa nga teyeesiikidde kanyeebwa n’asikizi Andre Onana, ggoolo gwe ziyitamu nga amazzi.

Onana yagulwa pawundi obukadde 47 okuva mu Inter Milan.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *