“Tetugenda kukkiriza badiifiri ba kiboggwe mu liigi”

“Tetugenda kukkiriza badiifiri ba kiboggwe mu liigi”

Gye buvuddeko, kkiraabu z’omuzannyo gw’okubaka eziwerako zibadde nga zijja zeemulugunya ku mutindo gwa baddiifiri ogusereba buli lukya nga bano bagamba nga kino bwe kiuddeko okwonoona liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka. Okwewala bino, ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation kizzenga kisomosa abakkomonsi ba ffirimbi bano ku mateeka amaggya wamu n’okubajjukiza ago ge baba

Gye buvuddeko, kkiraabu z’omuzannyo gw’okubaka eziwerako zibadde nga zijja zeemulugunya ku mutindo gwa baddiifiri ogusereba buli lukya nga bano bagamba nga kino bwe kiuddeko okwonoona liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka.

Okwewala bino, ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation kizzenga kisomosa abakkomonsi ba ffirimbi bano ku mateeka amaggya wamu n’okubajjukiza ago ge baba beerabidde.

Rosette Kaala akulira akakiiko kabakommonsi ba ffirimbi yagambye nti omulimu  gwa kakiiko gwakwekenneenya engeri buli ddiifiri gy’alamuddemu omupiira. Alaze omutindo ogw’ekiboggwe agololwa ensobi ze so nga n’akoze obulungi asiimibwa.

“Okuwa obubonero buli ddiifiri oluvannyuma lw’okulamula omupiira mmanyi nga kijja kubazzaamu amaanyi okukola ennyo.

Oyo anaalemererwa okukyusa mu nkola ye ey’emirimu oluvannyuma lw’okuweebwa obubonero obutono ajja kuba ayimirizibwa ku mulimu asooke yeetereeza,” Kaala bwe yakkaatirizza.

Bamaneja ba kkiraabu nabo bagamba nti basaba akakiiko kano okubawuliriza bwe baba balina okwemulugunya kwabwe ku baddiifiri abamu. 

Eddie Odhiambo nga omwogezi wa kkiraabu ya Makindye Weyonje yagambye nti si kirungi kubasibako bakommonsi ba ffirimbi be baba balumiriza okubavulugira emipiira gyabwe.

“Ddiifiri avuluga omupiira gwammwe kyokka bwe weemulugunya eri akakiiko ka bakommonsi baffirimbi kusuulwa mu kasero ne bamukuddiza ne ku mipiira egiddako ng’ate omanyi nti ekigendererwa kye kya  kuvuluga mupiira gwamwe abasuuze obubonero,” Odhiambo bwe yatangaazizza

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *