The Gazelles  ekubiddwa Kenya.

The Gazelles  ekubiddwa Kenya.

Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa basketball eyabakazi, The Gazelles, etandise bubi mu mpaka za FIBA Women’s Afro Basket Zone 5 qualifiers, ekubiddwa bamulirwanwa aba Kenya abalina ekikopo kino ku bugoba 61 – 53. Empaka zino ziyindira Lugogo mu Kampala, era nga omuzannyo ogwasosewo Misiri yakubye South Sudan obugoba 83-68. Uganda Gazelles ekomawo mu kisaawe okuzannya ne

Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa basketball eyabakazi, The Gazelles, etandise bubi mu mpaka za FIBA Women’s Afro Basket Zone 5 qualifiers, ekubiddwa bamulirwanwa aba Kenya abalina ekikopo kino ku bugoba 61 – 53.

Empaka zino ziyindira Lugogo mu Kampala, era nga omuzannyo ogwasosewo Misiri yakubye South Sudan obugoba 83-68.

Uganda Gazelles ekomawo mu kisaawe okuzannya ne Misiri kusaawa 1 n’ekitundu ezakawungezi, naye nga wagenda kusookawo Rwanda ng’ettunka ne South Sudan ku saawa 11 ez’olweggulo.

Amawanga gonna galwana kukiika mu mpaka ezakamalirizo eza FIBA Women’s Afro Basket Championship, ezinabeera e Rwanda omwaka ogujja 2024.

Mungeri yeemu Uganda Gazelles era erwana okuddamu okukiika mu mpaka zino omulundi ogw’okusatu, nga yasooka mu 1997 e Kenya ne 2015 e Cameroon.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *